Login to your account

Username *
Password *
Remember Me

OBUKODO N'OBUKOPI

Written by  Feb 10, 2018

Atamanyi mpewo y'e magombe y'amma omufu olubugo. Mowzey Radio awummudde ng'ayimbye ennyimba ennungi, bangi tuzikozesezza n'ebigendererwa bingi ne tuzifunamu nga tetufunye kye tumuddiza.

Katikkiro munnamateeka omutendeke Charles Peter Mayiga yasinzidde mu lutikko e Rubaga nga Fr. Kiibi akulembedde mmisa okusabira Mowzey, yagambye nti yakozesa nnyo oluyimba Tukikole neera neera okukungaanya ettoffaali. Abaffe kankikinale mbuuze, Mengo yawaddeyoki mu kukungubagira Mowzey? Obutitimbe bwe baakung'aanya mu ttoffaali baawadde amabugo ga sente mmeka!

{googleads center}

Obukodo n'obukopi birikoma ddi? Okukozesa ekintu kya munno mu bulungi ate mu bubi n'omuwa okusaasira okungi tekibeera kya bwenkanya.

Omugenzi Ssabalabirizi Livingstone Nkoyoyo yatukuutira nti okuyamba akatono kasinga okusaasira ennyo. Bannaffe omufu mwamummye olubugo tuswadde.

Paul Saaka ayiiyizza ennyimba nnyingi ezibawaana naye okutandika okumusiima yamala kugenda ku TV n'abawemuukiriza. Bambi Mowzey takyasobola kukikola, kitalo! {googleads right}

Bwe mubeera nga mwawaddeyo, mukama ambeere. Naye tolya kyamunno n'okinyooma akayimba ako kaabakolera neera neera neera kakyakola. Mukomye obukopi n'obukodo bannaffe.

Eyewitness 24

Unmasking the hidden truth

Website: eyewitness24.com
  1. Popular
  2. Trending
  3. Comments
DONORS ANGRY WITH BOU

DONORS ANGRY WITH BOU

Aug 05, 2017 999 Politics

OBUKODO N'OBUKOPI

OBUKODO N'OBUKOPI

Feb 10, 2018 912 News

UPDF IS A TRIBAL FORCE

UPDF IS A TRIBAL FORCE

Dec 07, 2017 1419 Politics

News Archive

« October 2021 »
Mon Tue Wed Thu Fri Sat Sun
        1 2 3
4 5 6 7 8 9 10
11 12 13 14 15 16 17
18 19 20 21 22 23 24
25 26 27 28 29 30 31