Login to your account

Username *
Password *
Remember Me

KKOOTI ERABUDDE: AGULA EBY’OMUGAGGA KIWANUKA YANDIGULA EMPEWO

Written by  Nov 05, 2019

KKOOTI etegeezezza nti abantu abatandise okugujubana okugula ebimu ku bintu by’omugagga asinza amayumba e Kololo n’amakkampuni Mw Mohan Kiwanuka ali mu kkooti n’omu ku batabani be  Ssebuliba Kiwanuka bandigula empewo.

Eno etegeezezza nti waliwo obujulizi okuva mu basawo abakugu e Bungereza ababadde beekebejja Mohan Kiwanuka abazudde gye buvuddeko nti alina obulwadde bw’okwerabira n’egamba nti omuntu ow’engeri ng’eno tayinza kukola bizinensi bwanamunigina.

Okusinziira ku alipoota y’abasawo okuba mu The City of London Medical Centre ng’eriko omukono gwa Dr Farook Maniyar eraga nti Mohan Kiwanuka atawanyizibwa ekirwadde ky’okwerabira.

Omuntu alina obulwadde buno kigambibwa nti ayinza okukuguza ekintu n’omusasula kyokka ssente nazireka wemuwandikidde nga tamanyi  oba okuwandika endagaano ate mu maaso n’ategeeza bwatagimanyi.

Emu ku bbaluwa gye twafunyeko kkopi, Dr Maniyar eyeekebejja Mohan Kiwanuka yategeezezza gye buvuddeko nti musajjamukulu atawanyizibwa ekirwadde kino nti era atera okubuuza ebintu bingi byeyandibadde amanyidde ddala obulungi ekiraga nti alina ekizibu.

Yawadde eky’okulabirako ky’olunaku Mw Mohan Kiwanuka lwe yali mu Amerika noomu ku bakazi be Mari Kiwanuka nga bagenze ku  mikolo gy’okutikkira omwana wabwe kyokka n’abuuza omukyala wag ye baali bali n’ensonga eyali ebatwazizaayo.

Wano omu ku balamuzi abali mu misango gya Kiwanuka we yalabulidde nti omunti bwati tayinza kutunda kintu mu mateeka kubanga asobola okukola ensobi oba okugimukozesa n’alabula ababadde batandise okwesunga okudondola ebimu ku bintu by’omugagga nti bandifirizibwa.

NB: FOR BREAKING NEWS,  GOSSIP AND ENTERTAINMENT LIKE AND SHARE OUR PAGE ON FACEBOOK #Eyewitness24

Eyewitness 24

Unmasking the hidden truth

Website: eyewitness24.com
  1. Popular
  2. Trending
  3. Comments
DONORS ANGRY WITH BOU

DONORS ANGRY WITH BOU

Aug 05, 2017 999 Politics

OBUKODO N'OBUKOPI

OBUKODO N'OBUKOPI

Feb 10, 2018 911 News

UPDF IS A TRIBAL FORCE

UPDF IS A TRIBAL FORCE

Dec 07, 2017 1419 Politics

News Archive

« October 2021 »
Mon Tue Wed Thu Fri Sat Sun
        1 2 3
4 5 6 7 8 9 10
11 12 13 14 15 16 17
18 19 20 21 22 23 24
25 26 27 28 29 30 31