News

Abanyarwanda Bannasangwa Basanyukidde Ekiragiro Kya Pulezidenti Ekimazeewo Okubasumbuwa Ku Paasipoota N’endagamuntu

Published

on

Bya Angel Lubowa

SERENA_ Kampala

Ebibiina ebigatta Abanyarwanda Bannasangwa eby’enjawulo nga bikulembeddwamu ekya Council For Abavandimwe, Umubano , Ensuti ya Nsuti n’ebirala ebyamaanyi by’egatidde wamu okusanyukira ekilragiro ekyenjawulo okuva ewa pulezidenti ekiyimiriza eby’okubanyigiriza.

Abanyarwanda Bannasangwa babadde batulugunyizibwa n’okuboolebwa mu kufuna Paasipoota N’endagamuntu nga abatali bannansi wabula bino Pulezidenti Museveni abigyewo.

Ekilragiro mulindwa Pulezidenti yakitaddeko omukono olunaku lw’eggulo era kyatandikiddewo okukola.

Eno y’entikko y’olutalo lw’Abanyarwanda Bannasangwa olwakulembeddwamu patulooni w’olukiiko olufuzi olw’Abandimwe Frank Gashumba n’ebibiina ebirala okulwanira obwenkanya.

Lyabadde ssanyu gyerereere ku Serena hotel eggulo nga baaniriza ekilragiro kino.

Pulezidenti wiiki ewedde yazeemu okusisinkana ebibiina by’Abanyarwanda Bannasangwa mu State House e Ntebe okubakakasa ku kiragiro kino .

Gashumba eyabadde abugaanye essanyu yategeezezza nti kati ebyokuboola Abanyarwanda Bannasangwa bikomye era abekitongole kya NIRA ekigaba endagamuntu n’ofiisi egaba Paasipoota n’ababadde bawamba endagamuntu za bannabwe ku nsalo abanaddamu okukikola batuuse okwatika nabo kubanga Pulezidenti abiyimiriza.

Mu kiragiro kino Abanyarwanda Bannasangwa balina kuyisibwa nga bannansi abalala bwe bayisibwa era bwewabaawo okubuusabuusa buvunaanyizibwa bwa NIRA naba Paasipoota okukasa nti gwebakolako munnansi ate nga kikolebwa mu mateeka.

Mu lukiiko luno Gashumba n’abakulembeze n’ebibiina by’Abanyarwanda Bannasangwa balumbye akabinja akatono akalimu Fred Mukasa Mbidde, Simon Kayitana ,Donati Kananura n’abalala okwefuula abakulembeze b’ekibiina ky’Omubano kye bagambye nti sikituufu benoonyeza byabwe.

Balabudde obutefuula abakirira ebigendererwa by’Abanyarwanda Bannasangwa ne babajukiza nti baabadde nabo ewa pulezidenti nti lwaki tebawakanyiriza eyo ekilragiro nga bwe batandise okukola.

Bano ennaku ezo bayogeredde ekilragiro ekyenjawulo amafukuule ekinyizizza ebibiina by’Abanyarwanda Bannasangwa omuli neky’Omubano kye bagamba nti kye bakirira ne kibegaana mu lujjudde.

Trending News

Exit mobile version