Abakungu b’ekisinde Kya PLU ekikulemberwa Gen Muhoozi Kainerugaba bakunze abantu Okujumbira Emisinde gy’okujaguza amazaalibwage ag’omulundi ogwa 51.
Emisinde gino gyakubaawo enkya ku Ssande nga 13/4/2025 nga abakudduka baakusimbula ku kisaawe e Kololo.
Abateesiteesi okwabadde abamyuka ba PLU mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo okwabadde Frank Gashumba ( Buganda), Jonh Bob Kakuru ( Kampala),Cedric Ndirima Babu (Kampala Extra) n’abalala okuva mu kisinde kino bagambye nti omulamwa omukulu kulwanirira butonde bwansi.
Omukolo gwakubaako okusimba emiti. Ababeera mu Kampala n”emiriraano bakugenda e Kololo ate abali ewala n’ebweru w’eggwanga bakuddukira eyo.
Abalala mu PLU ababaddewo kuliko Amina Mutesi Nalubega( Bugweri),Agaba Albert (KCCA), Rashid Ssekindi ( Akulira aba takisi) n’abalala okuva e Bunyoro, Tooro, Ankole n’ewalala.