News

Basobeza Ku Mukazi Kirindi Ne Bamutta

Published

on

Bya Angel Lubowa

Ntebbe

Abatuuze b’e Nkumba okumpi n’ekibuga ky’e Ntebbe bali mu kusattira oluvanyuma lw’abazigu abatanakwatibwa okukkira omutuuze ne ne bamusobyako kirindi n’oluvanyuma ne bamutta.

Jacinta Nasonko 30, abadde omutuuze mu Nkumba central zone yeeyatiddwa ku Ssande ekiro.

Okusinziira ku byakazuulibwawo, abazigu baasoose kumukubira ssimu ekiro ng’akuba amusaba okumuggulirawo kyokka olwabanduddewo olujji ne bamuyiikira.

Bamukulubizza ne bamuganzika mu kasiri ka muwogo okumpi awo weebamusoberezaako n’oluvanyuma ne bamutuga.

Omulambo gwe bagulese awo ttayo nga yenna yabadde awulubadde wansi mu bukyala. Bamulesezza abaana bana abato.

Ssentebe w’ekyalo Mw Peter Mponye ne kansala w’ekitundu kino, Mw Simon Muwonge baategeezezza nti bakyali mu kiyongobero n’okutya.

Kyokka bano ne poliisi baasabye buli alina amawulire agasobola okuyamba okukwata bakalibuttemu bano agatuuse ku bekikwatako.

Ettemu ly’abakazi lyaliwoko mu kitundu kino mu 2018_19 kyokka seculite nerirwanyisa nga kati okuttibwa kw’omukyala Ono kwewanisizza abatuuze emitima.

Trending News

Exit mobile version