News

E nteekateeka Z’okuziika Ssegirinya : Sipiika Asisinkanye Ffamireye, E Masaka Basima

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

ENTEEKATEEKA z’okuziika abadde omubaka wa palamenti owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya zigenda bukwaku oluvanyuma lwa Sipiika was palamenti Annet Anita Among okusisinkana aba ffamire y’omugenzi ne bakaanya.

Palamenti era yeetegese okukungubagira Ssegirinya eyafudde ku Lwokuna mu ddwaliro e Lubaga gyamaze ebbanga mu kisenge kyabalwadde abayi( ICU).

Sipiika yatadde obubaka ku kibanjakye ekya eky’omukutu gwa X nga bwe yasisinkanye aba ffamire y’omugenzi ku Lwokuna okubakubagiza n’okwongera okutaanya eby’okuziika era nasasira abalonzi be Kawempe North,, emikwano n”enganda nti omugenzi yabadde mukozi ate omuntu w’abantu atuuka ku “gulawundi”

Mu kiseera kye kimu ab’ekibiina kye ekya NUP, bannabyabufuzi abalala naba ffamire eggulo baatandisr okubaga pulogulaamu n’emikolo gy’okuziika nga bwegisuubirwa okutambula.

Ssegirinya asuubirwa okuziikibwa ku ssande ku kyalo Butale , mu Divizoni ya Nyendo _ Mukungwe mu Masaka City era abasimi b’ entaana baabadde babalaze w’agenda okuziikibwa nga barandise eby’okusima.

Trending News

Exit mobile version