News

Ebitiisa Ku Mpamba Ya Muvawala Owa UNAA Gwebaazudde E Buliisa

Published

on

Bya Musasi Waffe

Kampala

Omumyuka w’ekibiina ekigatta Bannayuganda abawangaalira mu North America ekya UNAA , Charles Bukenya Muvawala agambibwa nti yabadde awambiddwa wiiki ewedde kyadaali azuuliddwa mu kitoogo e Buliisa.

Muvawala nga mukwanaganya mu kibiina Kya NUP yabadde yeewanisizza abantu emitima bwekyagambiddwa nti yabadde awambiddwa ababaaya.

Bamuwambidde mu kabuga k”e Nakulabye wiiki ewedde ebweru w’ekidandali.

Eby’okumuwamba byalangiriddwa abakulembeze ba NUP ne balumiriza ebitongole bya securite nti balina kyebakimanyiko yadde nga bbo babyebalamye.

Kyokka ku wikendi, Muvawala yasangiddwa ngasuuliddwa mu kitoogo e Buliisa ngawulubadde nga kigambibwa nti abamuwambye baamutulugunyizza.

Omukulembeze w NUP, Robert Kyaggulanyi Ssentamu yategeezezza nti yayongeddeko ne Muvawala n’amutegeeza byeyabadde ayiseemu era nabivumirira .

Omwogezi wamagye
Maj. Gen. Felix Kulayigye yategeezezza nti kirabika Muvawala Alina situleesi za Pulezidenti Donald Trump agobaganya abali ku kyeyo mu ggwanga eryo.

Trending News

Exit mobile version