News

Ebitiisa Ku Nfa Ya Muhammad Ssegirinya!

Published

on

Bya Angel Lubowa

LUBAGA

Abadde omubaka wa Kawempe North eyafudde ku Lwokuna kumakya abadde yaggwayo dda kyokka nga ababika bebakyaluddewo.

Ensonda okuva mu ddwaliro e Lubaga zaategeezezza nti Ssegirinya amaze ebbanga nga tamanyi nabiri ku nsi era abadde akuumirwa mu kasenge kabayi akayitibwa Intensive Care unit (ICU).

Era eggulo kumakya bwe baasoose okumubika ate abasawo abakugu oluvanyuma oluvanyuma batangaazizzi yabadde afudde ebitundu by’omubiri ebyenkizo omuli n’obwongo kyokka ngakyalimu akalamu.

Wayise akaseera katono ate ne bategeeza nti Ssegirinya yabadde amaze nafa.

Kyokka abamu ku benganda n’emikwano baagambye nti ekituufu Ssegirinya abadde kumpi yafadda wadde ngabadde mu kasenge kabayi.

Nti nokutuuka okutwalibwa e Lubaga, yali yaggwayo dda kubanga ebitundu by’omubiri ebyenkizo ng’ensigo, amawuggwe, ekibumba n’ebirala byali byaggwayo dda.

Meeya was Kampala’, Hajj Erias Lukwago nga yoomu ku basembyeyo okulambuka Ssegirinya ku ndiri mu biseera by’eggandaalo lya ssekukulu yategeezezza ku CBS FM nti yasanze Ssegirinya tamanyi nabiri ku nsi era nti Lukwago kyamuyitiriddeko natya okugenda mu ICU okumulabako.

Ssegirinya ebimbe ebimusse byamunyikirira mu kkomera bwe yakwatibwa ne munne Allan Ssewanyana ( Makindye West) nga kigambibwa nti bebaali emabega w’ebijambiya ebyatemwanga abantu mu bitundu by’e Masaka.

Oluvanyuma bayimbulwa kyokka gyo emisango gikyaliwo ne bafuna obujanjabi mu Uganda n’amawanga g’ebweru kyokka Ssegirinya nayongera kubeera bubi okutuusa lwe yafudde.

Trending News

Exit mobile version