News

Eby’okugoba Hon Ndaula Olw’okulwanyisa Mufti Mubajje Birakidde Khadi W’e Luweero, Bamutwala Mu Kkooti

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Ssentebe w’olukiiko lw’Abasiraamu e Luweero, Hon Ali Ndaula Ssekyanzi agaanye okutiisibwa disitulikiti Khadi Sheikh Mulindwa Ramadan Swaibu Njala namulabula nti bwategendereza ayinza okusibira mu kkooti.

Amugambye nti bye yakoze (Mulindwa) okubaga ekiwandiiko okugoba Ndaula ku bwa ssentebe kimenya mateeka, yakoze mu bukyamu era ne konsitityusoni yabwe tekimukiriza nti n’olwekyo akimenyewo oba bamuvunaane mu mateeka.

Kino kidiridde Sheikh Mulindwa okuwandikira Hon Ndaula ngamulalika bwe bamuyimirizaako ku bwa ssentebe n’okumuyita mu kakiiko nga April 3 ,2025 yeewozeko olwokuwakanya obukulembezze bwa sheikh Mubajje obupya.

Ndaula wiiki bbiri eziyise yakulemberamu Abasiraamu abasimbula e Wandegeya ne batwala okwemulugunya mu palamenti nga bagamba nti Mubajje ekisanja bakimuwadde mu bukyamu.

Kino kyekyavuddeko Mulindwa agambibwa okuba munne wa Mubajje okwagala okugoba Ndaula.

Kyokka Ndaula ng’ayita mu ba puliida be aba M/S Ssewankambo and company Advocates, baategeezezza Mulindwa nti ebbaluwaye terina muzinzi, yakibogwe era yabumenyi bw’amateeka n’okukozesa obubi ofiisiye n’okulwanyisa obumu n’Obusiraamu.

Bamulabudde nti ensonga ezirambikiddwa mwayinza okulowooleza ku kugobwa Kwa ssentebe wabwe e Luweero byonna ebyakoleddwa Ndaula biri bweru waazo nti ate bwategendereza ye yeeyetadde mu kaserezi.

Kwekumuwa amagezi ebbaluwa agimenyewo mangu oba avunaanibwe mu kkooti.

Bano era bamutegeeza ng”omuntu wabwe bwatajja nakugenda mu kakiiko gye baabadde bamuyise kubanga yabadde n”obuvunaanyizibwa obulala n’okuba nga tekyetaagisa kubanga abamuyise nga bakulirwa Mulindwa kenyini ensonga zibayinze.

Gyebuvuddeko Mubajje eyabadde asuubirwa okuwummula oluvanyuma lw’okoona emyaka 70 yeeyongeza ekisanja kya myaka etaano bwe yakyusizza mu ssemateeka omukadde mu ngeri abamu gye baakubyemu ebituli era balayidde okumusuuza obwa Mufti.

Trending News

Exit mobile version