Bya Angel Lubowa
NAGGULU
Ssaabadduumizi wa poliisi Abbas Byakagaba yakoze enkyukakyuka ezatandikiddewo okukola mu bitongole bya poliisi mwakomerezaawo afande Norman Musinga mu Kampala okuva e Busoga gye yali yasindikibwa.
Abalala abakyusiddwa,AIGP Geoffrey Musana abadde mu kitongole kya embeera yabaserikale, emirimu n’ebyemizzanyo asindikiddwa ku kitebe kya Uganda mu South Sudan, SCP Moses Sakira abadde ku kitebe kino kati yagenda okumyuka dayirekita mu kitongole kya poliisi ekikola ku kunoonyereza n’okuteekateeka ate SCP Timothy Halago abadde mu kitongole ky’okunoonyereza n’enteekateeka alondeddwa okubeera omumyuka was dayirekita mu kitongole ky’embeera yabaserikale,eby’emirimu n’emizzanyo.
Ate CP Ben Mubangizi yasindikibwa ku kitebe kya Uganda mu Algeria
olwo CP Charles Ssebambulidde yagyiddwa mu kitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku poliisi ekwasaganya eby’obulimi n’obulunzi nasindikibwa okubeera omumyuka wa dayirekita mu kitongole ekirabirira ,okukanika mu poliisi n’okugabirira amafuta, emmere, ebyambalo ne kalonda omulala.
Ye CP Acaye Philip eyabadde mu kitongole kya poliisi y’ebidduka yasindikiddwa ku kitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku by’obulimi.