News

Firimbi Efuuyidwa Tewali Kulinda Kulala – Byabakama

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

OKUTONGOZA eby’okukebera enkalala z’abalonzi okwatandise ku Mmande nga January 20,2025 okutuusa nga February 10 wonna mu ggwanga y’entandikwa y’ebyobufuzi bya Uganda ebyakaasa meeme ebinavaamu Pulezidenti omupya mu 2026.

Bweyabadde atongoza eby’okukebera enkalala z’abalonzi, e Kamwokya, akulira akakiiko K’ebyokulonda omulamuzi Simon Byamukama yakunze abantu okukasa nti byonna ebibakwatako biri katebule kibasobozese okwetaba mu Kulinda kwa 2026.

Gwo omulimu gw’okwekebejja enkalala gwatandise bulungi wadde nga mw’abaddemu obumulumulu bwa kompyuta.
Wabula abakugu baategeezezza nti ebyasoose okusoba byakukolwako.

Okukebera enkalala kwekukulembera eby’okunkanda era bannabyabufuzi abagala ebifo eby’enjawulo eby’obukulembeze babafuyidde firimbi akayisanyo katandike.

Okulonda okusookerwako naddala ku bakulembeze ab’ebifo eby’enkizo nga abavubuka, abalina obulemu, abakozi, abakazi n’abakadde kwekwokusooka mu mwaka guno ate abababaka ba palamenti n’ okulonda Pulezidenti kusembeyo era abagala okuvuganya Pulezidenti Museveni naye agenda okwesimbawo batandise okwetala.

Trending News

Exit mobile version