News

Lwaki Abayeekera Bayimiriza Emmundu E Congo( DRC)

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Abayeekera ababadde beesomye okukuba amagye ga Pulezidenti Felix Tshisekedi paka Kinshasa baategeezezza nti basazeewo okuyimiriza ku mmundu okutandika leero ku Lwokubiri nga bagamba nti abantu babulijjo basusse okubundabunda n’okutibwa.

Bino bizze ng’ebibiina by’abayeekeera e Congo DRC gavumenti ya Tshisekedi bigiri bukiika era ng’ennaku ezo baawambye ekibuga ky’e Goma mu ssaza lya North Kivu kyokka nga n’ekibuga Bukavu mu South Kivu kibadde kisulirirwa.

Emmundu abayeekera gye baasumulula ebadde eyogeza amawanga omuli n’Agabazungu obwama nga banenya Rwanda okuba nti yeerwanira ku ludda lw’abayeekera naddala aba M23. Wabula bino Rwanda ebiwakanya.

Mu kiwandiko ekyawamu ekyafulumiziddwa omukago gw’ebibiina by’abayeekeera ogwa Alliance Fleuve Congo (AFC) nga kiriko omukono gwa Lawrence Kanyuka omwogezi,, byagambye nti emmundu k’esirikemu bannansi bafune obuwereero, emmere n’okwejanjaba kyokka ne binenya amagye ga Congo DRC aga FARDC agabadde gakozesa ennyonyi okuwandagaza bbomu nti geegsasinze okutta n’ okukosa abantu babulijjo. Balayidde okukuuma Goma n’ebifo ebirala byebeddizza.

Kyokka waliwo ebigambibwa Okusinziira ku bitongole by’amawulire abayeekera okuyimiriza olutalo ensonga ziwerako omuli okuddamu okwetereza n’okufuna eby’okulwanyisa, okutya natti za Bulaaya zetiisizza okussa ku ggwanga lya Rwanda okuyimiriza obuyambi bwa doola za Amerika akawumbi kalamba buli mwaka singa tegya maggye gaayo Congo DRC gattako South Africa okulalika okweyingira eddwaniro mu ngeri ey’enjawulo.

Pulezidenti wa South Africa,Cyril Ramaphosa ennaku ezo abeetuttemu ne munne Paul Kagame owa Rwanda gyalumiriza okuwagira M23 yalalise okugyayo eby’okulwanyisa mutaseka abyongere amagye ga South Africa agali e Congo DRC zidde okunywa.

Kyavudde ku ba M23 okutta abajaasibe abasoba mu 14 mu kulwana e Goma.

Amagye ga South Africa National Defence Force (SANDF) gaasindikibwa e Congo DRC mu mukago gwa Southern African Development Community Mission in the DRC (SAMIDRC) ekilwa amawanga ga SADC kyokka M23 ebadde egatabaala olw’okuba endagaano kwegagira siyakulwana butereevu wabula Ramaphosa alaliise okunyiga eppeesa galage M23 n’abalala enkola.

South Africa yeemu ku mawanga agalina eggye n’ebyokulwanyisa ebyamaanyi mu Africa .

Eno bwekwatagana ne Angola, Zimbabwe, Tanzania nga bweziri mu SADC Congo DRC esobola okuwunya evvumbe era bano beebafutiza M23 lweyasooka okuwamba Goma ne bagigobamu nga ne nabuggi simufungize.

Ne Burundi ebadde yeewera okubagana ne Rwanda essaawa yonna kasita M23 ewsmba Bukavu nti kubanga kyandiwadde omukisa abayeekera abawanya Burundi beerumiriza nti bawagirwa Rwanda okufuna embavu nga M23 ebayambako.

Rwanda nayo erumiriza Burundi okuwagira entalahamwe ezigitawanya.

Burundi eyinza okuba enafu ku Rwanda kyokka olutalo bwerutandika abalabe ba Rwanda basobola okukozesa omukisa guno ogifutiza olutalo n’ekitundu kyonna ne kitabanguka.

Waliwo n’olukungaana oluyitiddwa e Tanzania wiiki eno okwetabwamu South Africa, Uganda, Rwanda, Congo DRC, Kenya n’amawanga ag’ omuliraano okumulungula entalo z’e Congo DRC.

Trending News

Exit mobile version