News

Minisita Otafire Agaanye Poliisi Okulemesa Enkungaana Z’aba Opozisoni

Published

on

Bya Muwandiisi Waffe

KAMPALA

Minisita avunanyizibwa ku nsonga ez’omunda mu ggwanga alabudde poliisi obutaddamu kulemesa nkungaana ezikubibwa ababaka ba Opozisoni.

Agambye nti ababaka ba palamenti tebetaaga lukusa kuva ku poliisi okukuba enkungaana mu bitundu byebakirira.

Bwe yabadde mu kakiiko ka palamenti ku Lwokuna, minisita Gen Kahinda Otafire yagambye nti abaserikale ba Poliisi babadde bakola nsobi Okulemesa ababaka ba palamenti okukuba enkungaana mu bitundu byabwe.

” Tewali lukusa lubeeraagisa. Olukusa lulina kubawebwa balonzi era bwebabeera tebabagala tebajja kukungaana kubawuliriza” Otafire bwe yalabudde.

Poliisi ebadde yafuuka omuziziko nga tekiriza babaka ba Opozisoni kukuba nkungaana nga yeekwasa obuteekateeka era ezisinga zibadde zigwera mu ttiyagaasi.

Okusooka minisita era yalabudde abaserikale obutatta muntu yenna ateberezebwa okuba omumanyi w’amateeka , awanise oba ku mpingu okugyako Oyo alina emmundu n’agamba nti abaserikale abasse ababbi 6 ababadde bateberezebwa okuba ababbi ku banka ya Stanbic ku Acacia mall e Kamwokya barandise okubanoonyerezako.

Trending News

Exit mobile version