Bya Musasi Waffe
KAMPALA
Obubbi obwongera okusimba amakanda mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo kutiisizza abatuuze ne basaba bekikwatako okusitukuramu.
Mu Kiro ekyakesezza olwa Mmande nga January 27,2025 e Zzimwe , Mininya mu bitundu by’e Kyanamukaaka ababbi basuze batigomya byalo kyokka abatuuze bekozeemu omulimu ne battako omu eyategerekeseeko erya Jackson.
Ate mu kitundu ky’e Lwebitakuli mu disitulikiti y’e Ssembabule owa bodaboda Simon Kabigumira yattiddwa abanyazi abamupangisizza ne bagenda be pikipiki ye.
E Masuulita mu disitulikiti y’e Wakiso, ku kyalo Kasula, omutuuze baamutidde mu nyumbaye bwe baagisimye ne bamutta.
Eyatuddwa yabadde yakamala okunobwako omukazi agambibwa nti yagenze yeewera nga kati yoomu ku bateberezebwa okugula abazigu.