News

Owa LC Asse Mukaziwe Lwakumubeeba Ssente Za Paasika!

Published

on

Bya Musasi Waffe

Kasanda

Owa LC awunikiriza ekyalo bwakakanye ku Mukaziwe n’amutta nga kigambibwa nti oluyombo lwavudde ku butakaanya ku ssente za Paasika.

Godfrey Mutungi 55 omuwandisi w’olukiiko lw’ekyalo Ndaiga olwebyokwerinda kati poliisi emuyiga lwa kutta Mukaziwe Jennifer Busingye mu Kiro Kya April 16.

Omu ku balirwana yategeezezza nti omugenzi ne bba baludde nga banenengana n’okulwana olw’obutakanya obutaggwa bwe babadde nabwo.

Bano baabadde batera okuyomba nga buli omu alangira munne obutabeera mwesimbu, ebintu byawaka nti ne ku mulundi guno baatandikidde ku kuyombeera nsansaanya ya Paasika ekawungeezi oluyombo ne lugaziwa ekiro nga bamaze okweggalira.

Mulirwana omulala yategeezezza nti bano okulwana baamaze kwesibira mu nju nti baawulidde obubinkana nemiranga kyokka baagenze okutuukayo ng’omukazi afumitiddwa ebiso mu ffeesi n’ebitundu by”omubiri ebirala.

Abafumbo bano baabadde n”abaana abasoba mu 10 .

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kye Wamala region, Racheal Kawala yagambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso okukwata essajja lino.

Trending News

Exit mobile version