Frank Gashumba nga ayogela Eli Abanyarwanda Bana’Uganda
EBIBADDE BIRUMA ABAVANDIMWE
Gashumba n’Abanyarwanda abalala baategeezezza nti wadde ssemateeka wa 1995 ayobera ku Banyarwanda abasangibwa kuno mu 1926 n’okweyongerayo nga bannansi ate NIRA ne ofiisi ya Paasipoota zibadde zibaboola nga zibama Paasipoota N’endagamuntu era n’abamu abazifuna edda zibadde zogaanibwa okuzibwa obugya ate endagamuntu ne ziboyebwa ku nsalo ekintu ekimenya amateeka.
Abalala babadde babatuma abazadde, bajjajja baabwe, okubapima amakudde oba okubatuma ebiggya byabajjabwe oba ebiwandiiko era bangi batotodde ennaku eyungula amaziga gyebayitamu.
Kyokka Gashumba yategeezezza nti kasita ekilragiro ekyenjawulo kinalangirirwa Pulezidenti bino byonna bisuubirwa okuggwa nti mu nsisinkano bakkiroziganyiza nti Abavandimwe oba Abanyarwanda Bannasangwa tebalina kuyisibwa nga abatali bannansi nti gavumenti egenda kukozesa ekitongole kya ISO, ebbaluwa okuva ku byalo gye bawangalira, ebbuwa zabataka abesugika okukasa nti ddala Bannasangwa olwo bawebwe Paasipoota oba endagamuntu.
Pulezidenti yagambye nti enkola Eno egenda kuyamba Abanyarwanda abatali Bannasangwa okukozesa omuwatwa guno okufuna Paasipoota N’endagamuntu nti bano bbo balina enkola mu mateeka gye basobola okuyitamu okufuuka Bannayuganda ng’abagwira abalala bwe bakola.
Gashumba yagambye nti okutuuka ewa Museveni ye n’akakiiko ke basooka kutuuka mu ofiisi zonna ekikwatibwako omuli eya Sipiika, palamenti, Kaliisoliiso, minisitule y’ensonga ez’omunda, ekitongole ekirwanirira obwenkanya n’ewalala.
Omukulembeze wegwanga Yoweri Museveni ne Frank Gashumba mu nsisinkano
Yagambye nti kati webatuuse siwabi kubanga ensonga zaatuuse ne mu lukiiko lwabaminisita ne palamenti n’agamba nti weewaawo.
Aboogezi abenjawulo omwabadde n’omumyuka wa Victoria university, Dr Lawrence Muganga Ono yalaze obukulu bw’obumu n’okulwanirira ebiseera by’Abanyarwanda Bannasangwa ebyomumaaso.
Yagambye nti tebanoonya ssente oba mirimu wabula okwerwanako bafune obwenkanya n’abaana n’abazukulu.