Connect with us

News

Ababasaba Ssente Omutereeza Enkalala Z’abalonzi Mubayitire Poliisi

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Akulira akakiiko K’ebyokulonda omulamuzi Simon Byamukama alagidde abalonzi okuloopa abakozi b’akakiiko abagambibwa okusaba ssente abagala okubaterereeza ebibakwatako mu kitabo ky’abalonzi.

Yagambye nti tewali muntu alina kusasula ssente yonna.

Kino kidiridde bannamawulire ba CBS FM okumubuuza lwali abamu ku bakozi b’akakiiko e Kasanda basaba abalonzi ssente okuzza enkalala z’abalonzi obugya.

Kyokka Byabakama yagambye nti ogwo musango nti abazisaba baloopebwe poliisi ebayoole.

Okutongoza eby’okukebera enkalala z’abalonzi okwatandise ku Mmande nga January 20,2025 okutuusa nga February 10 nga y’entandikwa y’ebyobufuzi bya Uganda ebyakaasa meeme ebinavaamu Pulezidenti omupya mu 2026.

Gwo omulimu gw’okwekebejja enkalala gwatandise bulungi wadde nga mw’abaddemu obumulumulu bwa kompyuta.
Wabula abakugu baategeezezza nti ebyasoose okusoba byakukolwako.

Okukebera enkalala kwekukulembera eby’okunkanda era bannabyabufuzi abagala ebifo eby’enjawulo eby’obukulembeze babafuyidde firimbi akayisanyo katandike.