Amawulire go aga Eyewitness 24/7 g’ofunira ku www.eyewitness24/7.co.ug gakukuwanga akanyomero ka SSENGA MUTIINI akokubangula mu nsonga z’amaka, omukwano, ekisenge, enkuza y’abaana n’enkulakulana mu bagalana. Yiga nga be’ofuuka kafulu n’okusala situleesi.
Ddala Laavu ewooma binonoggo sibigambo ng’abamu bwe beesoma n’ogamba nti Ono gwenfunye maze wabula ogenda omutuukako nga temuli kantu.
Ekituufu buli anoonya omwagalwa owolubeerera oba owakaseera akatono abeera yeetaaga afune ekyo ekisinga.
Bwofuna ekisinga n’onyumirwa Laavu nga naawe ogyewulira munno akuwa ekituufu era ngokutta sibino eby’okukaka Laavu yammwe ebeera ejja kunywera.
Laavu bw’enywera eyali eyakaseera efuuka yabuwangaazi evaamu n’obufumbo ate bweyuuga ne bwoba wayagala kuwangaaza munno wekanga omusuddewo.
Ng’ogyeko ebya ssente, empisa n’okusalawo kwa Katonda,bibiino ebiyinza okulemesa abagalana okumalamu akagoba oba okutuukanga ku ntikko oba buli omu okuva mu kikolwa ky’omukwano ng’amatidde. Omanyi emirundi egimu omusajja avaawo akakanye kyokka ng’omukazi yeesooza bamulese ku bitaala tamaze.
Ate nga kirungi abagalaana okuzanya akaboozi buli omu namatiira munne era nasima naye omu bwatamatira kikendeza obwagazi.
Ssenga Ketty nampeera ow’e Nansaana nga Ono mukuugu mu nsonga z’ekisenge agamba nti, bingi ebiremesa abagalana obutanyumirwa kaboozi era muno mwemuli;
1_Obukyafu: Abagalana bombi balina okubeera abayonjo naddala omukazi. Ono abeera ateekeddwa okusaawa ekibiira naye buli lwakireka nekizika kikalabula omusajja agenda okumaliriza akazanyo nga yenna ajjudde mabwa.
2_ Era omukazi alina nokugoberera
emitendera gy’engeri nnabunya gye bamunazaamu kubanga emmeeme z’abasajja mbi . Bano abayiga okugwa amabakuli oba abasokoola ffene tolina balekera kasu konna olwo omulyi afuna amaanyi n’akutuusa gyoyagala yonna.
3_Sitayiro zemukola mu zipime kubanga enkambwe ezimu zeetaamisa abakazi n’abasajja.
Muzikanyeko nga muli mu lukiiko lwamwe. Okugeza sitayiro ya kagongo omukazi lw’abeera wansi neyewetamu nga amagulu agawanise omusajja nalyoka abeera waggulu
omusajja gyakomya okugiwanagiramu abeera alumya munne kubanga abeera buziba ddala.
4_Oluyimba lwe ggwanga nalwo kikulu nyo omukazi natamumunyala wabula nayogerera omupiira.Ate telulina kubowa ng’odingana ebigambo bye bimu beera muyiiya nyo.
5_ Temugenda mu lukiiko nga mukusse ekususse guno mwenge, nkoko, chipusi oba kafakunaali omulala. Omusajja akusse enyo tabeera n’amaanyi ga mikolo ofundako nomuyala omukutto kisiraani mu kisenge kubanga obwongo bubeera amaanyi bugatadde kukumalawo mukutto ate ku mukazi enjawulo kufanagana oyinza n’okwekuuliira.
6_ Kakasa nti temuliimu ndwadde ez”ekikaaba omuli kandidda ,endukusa n’endala nyingi kubanga zizibikira enseke ezivaako obwagazi okukendeera kwosa n”okufuna ekiisu mu bitundu by’ekyama .
7_ Omusajja olina okubeera nga tiimu ya premier liigi ey’etegekera omupiira n’otabongootera mu kisaawe kubowa munno. Bwowulira tolina bulungi maanyi tewentantala gologoosa kuleka bano mu kubbo. Kozesa ku giimu, oba eddagala naddala ery’obutonde okwewagala omuli ne kaawa omupiira gugende bukwaku.