Connect with us

News

Abakazi Kikemo: Ono Eyaganzizza Omukuumi N’amukanda Valentine Yamubbisizza Obukadde 79, Mukwate!

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Omukazi Eyaganzizza Omukuumi w”edduuka gagadde namupeeka ebimuli ne ssente beerage Laavu ku valentine yakomekerez amubbisizza.

Joseph Ndamuwa omukozi ne kkampuni y’abakuumi eya Detail security services yetagyiddeyo bakamabe emmundu n”abanyaga obukadde 79 zeebabadde bapakir a okuzitwala mu banka.

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Oweyesigyire yagambye nti Ndamuwa poliisi yamusimbyeko ngobunyazi bwakabaawo nemukwata kyokka yamusanze n’obukadde 70 bwokka.

Tekinamanyibwa oba ssente endala yabadde amaze okuzikwanga muganziwe kazaalabulwa bwekiba nga ddala kye yagambye nti omukazi yeeyamukemye kituufu.

Obunyazi buno bwabaddewo ku Lwokutaano olwa Valentine Omukuumi Ono bwe yabbye ssente okuva ku Mukadwe Hardware e Wampeewo okumpi ne Kasangati wabadde akuuma.

Yazigye ku mubazi w’ebitabo bya kkampuni, Ashiraf Katende oluvanyuma lw’okumuteeka ku muddumu gw’emmundu. Poliisi yamugobye n’emukwatiriza ku nkulungo y’e Naalya ng’abulawo. Akuumibwa ku poliisi e Kasangati ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.