Connect with us

News

Abasiraamu Batabukidde Sheikh Mubajje Okweyongera Ekisanja, Bagenze Mu Palamenti

Published

on

Bya Angel Lubowa

Wandegeya

Ekibinja ky’Abasiraamu ababadde abakaawu nga bakutte ebipande ebivumirira Sheikh Shabban Ramadan Mubajje Okweyongera ekisanja balumbye palamenti nga Baagala eyingire mu mivuyo egigambibwa okwetobeka mu by’okumulonda.

Kyokka poliisi y’e Wandegeya yabalemesezza okuyita mu Kampala wakati n’ebipande n’ebamatiza ne beerondamu ttiimu eyavugiddwa poliisi yoogayooga ku palamenti gye batadde ekiwandiiko kyabwe.

Bino byabaddewo eggulo ku Lwokubiri Abasiraamu bano bwebakulembeddwamu Hon Ali Ndaula Ssekyanzi eyali omubaka wa Bamunaanika nga kati akwasaganya egya PLU, n’obuvunaanyizibwa obulala, Hajj abduy Kiyimba, Hajj Abdul Noor Katungulu n’abalala.

Bano bagambye nti kikafuuwe okukiriza obukulembezze bwa sheikh Mubajje kubanga nekisanjakye kyaweddeko nga byonna ebyakoleddwa bifumbirire.

Kino kidiridde Sheikh Mubajje eyawezezza emyaka 70 nga March 12 omwaka guno ate okuddamu okulondebwa olukiiko lw’abamanyi ku bwa mufti.

Ssemateeka wa UMSC omukadde agamba nti mufti talina kusussa myaka 70 kyokka sheikh Mubajje yamukolamu enongosereza mu 2022 nayongezaayo.okutuuka ku myaka 75 n’obuyinza obulonda n’abugya ku ttabamiruka wa UMSC n’abulekera olukiiko lw’abamanyi oluyitibwa Majlis Al_Ulama era lwelwamuzizaaako. Obwa mufti yasooka kubulya mu 2000.

Kyokka eby’okumuzaako bisikuudde abamu ku Basiraamu emmeeme era bawera okumulwanyisa.

Ndaula ne banne beegasse ku biwayi ebirala ebilwan Mubajje omuli n’ekya Sheikh Abdallah Ibrahim Ssemambo eyerangirira edda ku bwa mufti n’abalala.