Connect with us

News

Abasiraamu Bawagala Biso Kasita Sheikh Bubajje Alemera Ku Bwamufti Omwezi Ogujja

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

ABAMU ku Basiraamu balayidde obutakiriza Mufti Shaban Ramadan Mubajje kuddamu kubeera Mufti kasita aweza emyaka 70 omwezi ogujja.

Ssemateeka w’Obusiraamu Mufti Mubajje gwe yakwatamu mu 2022 yali agamba nti Mufti analyanga ofiisi eyo ng’asussa emyaka 55 ate bwaweza emyaka 70 anyuke.

Kyokka mu nkyukakyuka ezayisibwa abamu ku Basiraamu nga July 13,2022 kyasaliddwawo Mufti afugenga ebisanja bibiri bya myaka 10 gyokka ate ngabeera wakati w’emyaka 55 ne 75 n’obuyinza obumulonda ne bugyibwa ku ttabamiruka w’olukiiko lwa UMSC nebuwebwa olukiiko lw’abamanyi.

Abagoberera ensonga z’Obusiraamu balaze okutya nti sheikh Mubajje ategese okukozesa emiwatwa eggyo okulemera ku bwa Mufti wadde nga March 12,2025 lwaweza emyaka 70.

Kyokka batiisizza okukola buli kyetaagisa mu mateeka n’ebweru waago okumulemesa.

Bino webijjidde nga Mubajje awakanyizibwa nyo ekiwayi kya Sheikh Abdullah Semambo eyalondebwa ab’ekiwayi Kya UMSC abatuula e Gangu nga n’ensonga ziri mu kkooti.

Bano nabo abateeka ofiisi yabwe mu wooteri e Kampala mukadde okumpi ne ofiisi za Mufti entongole ku kitebe ky’Obusiraamu bagoberera buli ekigenda mu maaso era beewera okulaba nti Mubajje tacanga Basiraamu.

Mubajje amaze emyaka 20 ku bwa Mufti okuva mu 2000 lwe yalondebwa kyokka abamu ku Basiraamu bamuvunaana okutunda emmaali y’Obusiraamu era kyentavaako n’okutondebwawo kw’ekiwayi Kya Supreme Mufti ow’e Kibuli.Mubajje eby’okutunda emmaali abiwakanya.

Abasiraamu abalala babadde n’esuubi nti Mubajje agenda kubaviira omwezi ogujja kyokka waliwo ebigambibwa nti akomawo.

Mubajje abadde tanabaako kyalangirira kyokka omwogezi wa UMSC Ashiraf Zziwa yagambye nti akyerowooza.