Bya Musasi Waffe
Lwengo
N’okutuusa kati abangu bakyagenda mu maaso n’okukatiriza nti amayembe n’emisambwa mu Buganda binyiivu baba NRM ekyavuddeko enjuki okutwala ababadde bategese olukungaana lwa NRM enttagi.
Bino byabaddewo e Lwengo ababaka ba NRM n’abanene bwe baabadde bategese olukungaana okutunda Pulezidenti Museveni ne NRM mu Buganda ekubire waggulu mu kulonda okujja.
Luno lwe baatuumye “Buganda For NRM” baabadde basuubirwa okulaga NRM byekoze be byetegeka okwongera okukola era bamalirize nga balaze obuwagizi bwabwe eri jjajja, Pulezidenti Museveni nga bwe bazze bakola.
Kyokka ng”emikologitandika ebinja ly’enjuki ezaabadde enkambwe zaasazeeko.olwo bonna ababaddewo ne babuna emiwano era omukolo gwakomye awo.
Bino byavuddeko abantu abamu okuwanuuza nti aba NRM baabadde babasindikidde amayembe ate abalala nti amayembe n’emisambwa gya Buganda minyiivu waliwo ebyetaaga okutereza NRM bweba yakutinta.
Omu ku bannabyabuwangwa ssalongo Mwanje yagambye nti enjuki okuzinda gitera kubeera misambwa na mayembe nga bisindikiddwa oba nga byesindise okulaga embeera enkyamu eriwo era kabeera kabonero kalulu akalabula.
Kyokka waliwo abagambye nti enjuki zazze buzzi nti omukolo bakuguddamu olunaku olulala.