Bya Musasi Waffe
Mbale
Poliisi etandise omuyiggo ku musajja eyatutte omuyizi w’essomero mu Loogi n’amusobyako n’oluvanyuma n’amutta omulambogwe n’aguleka mu loogi.
Ettemu lino lyabaddewo ku Ssande mu kibuga ky’e Mbale mu Loogi eyitibwa Grace guest house.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino, Roger Taitika yategeezezza nti omuwala Binti Edrisa Namusi abadde asoma siniiya ey’okubiri mu Nakaloke SS yeeyatiddwa.
Ono ku Ssande ewedde ssaawa nga mukaaga yasasudde akasenge nnamba 11n’oluvanyuma omusajja agambibwa okuba muganziwe yamwegaseeko ne beegalira.
Kyokka oluvanyuma lw’esaawa nga 3 abakozi ba Loogi beekanze okusanga ng”omuwala yafudde dda ate ng’omusajja talabikako era baayitiddewo poliisi.
Kigambibwa nti omusajja oluvanyuma naye yakubidde aba ffamire y’omugenzi ngakozesa akasimu k’omugenzi.
Kyabadde tekinamanyibwa oba omuwala yatugiddwa oba yafiridde mu kikolwa.
Loogi Eno esangibwa ku luguudo oludda e Soroti mu Namakwekwe ward, Northern Division,.