Connect with us

News

Bakutte Abakukusa Abaana Okubatunza E Kenya

Published

on

 

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

TEKUBA kukola Kwa poliisi , abaana abato abawera 42 babadde bamaze okutwalibwa okukozesebwa mu buddu ku muliraano e Kenya kyokka ng’abazadde baber batimbiddwa bbula nti bagenze kusoma.

Bano Poliisi ya Uganda yabataasiriza ku nsalo ya Uganda ne Kenya e Busia bwe yagudde mu lukwe luno.

Kyadiridde okukazakaza Christopher Katabalwa ne Monica Mirembe ababadde bakulembeddemu olukwe luno era oluvanyuma bano baabakwatiddwa nga bagenda kuvunaanibwa misango gyakukusa baana.

Omukungu wa poliisi Kigenyi Basalirwa akwatubwako ensonga eno yagambye nti ku baana bano, 11 babadde bagyiddwa mu disitulikiti y’e Wakiso.

Yagambye nti abazadde bangi ennaku zino bagyibwako abaana ngababakukusa beerimbise mu kubawa basale olw’okuba bakimanyi nti waliwo ebbula lya ssente ne fiizi n’alabula abantu okubeera ab’egendereza.

Kigambibwa nti abaana abaanunuddwa babadde bagenda kuguzibwa bagagga e Kenya babakozese mu bwa yaaya n”emize emirala kyokka ngabazadde tebamanyi ” Bawoza mwana yagenda kusoma”.