Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Kkooti Enkulu mu Kampala yatidde okuwulira omusango balooya ba Dr Kiiza Besigye gwe baabadde bagala ku kulagira ayimbulwe e Luzira ng’omulamuzi agamba nti embeera y’obulamibwe mbi etiiisa.
Dr. Kizza Besigye ne munne Hajj Obeid Lutale kkooti yalagidde ne bazibwayo e Luzira ng’egamba nti okuwulira omusango guno kwandiyongedde kuteeka bulamu bwa Besigye wabi.
Omulamuzi Douglas Singiza, yagambye nti balina ebiragiro nga kkooti obutawulira misango nga bedikwatako balwadde nyo nti watya ng’omulwadde azirikidde mu kaguli? Kwekulagira Dr Besigye ne munne ne bazibwayo.
Kyokka ate kino kyayongedde kutiisa bawagizi ba Dr Besigye ne famileye kubanga dokita mulwadde nyo era wiiki ewedde bamututte newa dokitawe e Bugoloobi kipayopayo.
Mukiseera ky’ekimu ofiisi ya ssabawolereza wa gavumenti ekyakalambidde ng’egamba nti ekiragiro Kya Kkooti ensukulumu ba puliida ba Dr Besigye bakitaputa bulala okutuuka okulowooza nti Dr Besigye ne munne balina okuyimbulwa.
Bano bagambye nti kkooti ensukulumu yalagira kkooti z’amagye kuva mu misango gyabantu ababulijjo sikubayimbula nti entegeka zikolebwa Dr Besigye n’abalala ab’emisango egigwa mu ttuluba lino okukyusibwa bawozesebwe kkooti ezabulijjo.
Wabula abakugu, Bannamateeka , abalwaniririzi b’eddembe ly’obuntu bazze balabula nti Dr Besigye Mukiseera kino omulwadde mu kkomera e Luzira singa afiirayo eggwanga lisobola okufuna obuzibu.