Connect with us

News

Buli Mubaka Bamuwadde Obukadde 100 Mu Gandaalo Lya Paasika , Bannansi Sibamativu

Published

on

Bya Angel Kubowa

KAMPALA

ABAMU ku Bannayuganda Sibamativu olw’engeri gavumenti gy’emansamu ssente z’omuwi w’omusolo gw’ebasolooza mu bukambwe nga Kato buli mubaka wa palamenti awereddwa obukadde 100 yeekubeko enfuufu mu Paasika.

Ssente zino ezitamanyiddwako kigendererwa zaawereddwa ababaka bonna okuli aba NRM, aba opozisoni n’abatalina ludda. Palamenti yonna erimu ababaka 529 n’abalala 28 abatakuba kalulu.

Ababaka ba NRM ezabwe baazifunidde ku mwaliro gwa palamenti ogw’okuna ate abalala bakira bazifunira ku mwaliro nnamba 5 okuva ku Lwokubiri lwa wiiki eno.

Kyokka ekikolwa kino kinyizizza abamu ku bantu nga bagamba nti eggwanga litubidde mu bwavu n’amabanja, mu malwaliro eddagala terimala ne Bannansi baavu kyokka gavumenti eyiwayiwa ssente.

Ensonda zaategeezezza nti wadde ssente zino ziyinza okuba nga zaawereddwa kukunga bantu kuwagira pulogulaamu za gavumenti n’okubayisa mu Paasika, wayinza okubaawo ekigendererwa ekikusike gavumenti kyeyagala okuyisaawo nga bwezze ekola.

Muno mulimu enongosereza ku tteeka lya kkooti z’amagye kkooti ensukulumu zeyakubamu ebituli gavumenti lyetegeka okuleeta, enkyukakyuka mu nonda ya Pulezidenti, ne kafakunaali omulala.

Ssente ezagabiddwa kigambibwa nti yanokoddwa ku bikutiya by’enyongereza ku bajeti obutabalika buna ezayisiddwa mu kasayiriro ennaku ezakayita.

Ababaka ba palamenti baabadde tenavaayo kuvumirira oba okuwagira ssente zino.

Kyokka wiiki ewedde akulira ekibiina kya NUP , Robert Kyaggulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine bwe yabadde ku palamenti yavumiridde enguzi esusse mu gavumenti n’okukozesa obubi ssente z’omuwi w’omusolo.

Ne palamenti ezasooka waliwo lwe zaawebwanga ssente eziriko ebibuuzo okugeza mu 2017, buli mubaka yawebwa obukadde 200 mukiseera ekiteeso kyokugyawo ekkomo ku myaka GTA Pulezidenti wekyayisibwa.