Connect with us

News

Ebipya Ebizuuse Ku Muwala Alumiriza Mbidde Okumugula Ebanja N’atamusasula!

Published

on

Bya Basasi Baffe

“MBIDDE ng’ogyeko okungula yanimba okunfunira omulimu ogw’ebbeeyi nanzigyako Ddoola 2000 mu kaasi Doola 1000 zeezaali ez’omusanyusa awamu ze 3000”

Omuwala kalaala enzalwa ya Rwanda ayongedde bwiino atiisa ku ngeri abadde omubaka mu palamenti y’omukago gwa East Africa, Fred Mukasa Mbidde gyagambibwa okumugula ebbanja kyokka namukubirayo.

Mutoni Beyise yategeezezza mikwanogye amangu ddala nga yakayimbulwa ku kakalu ka poliisi ya Jinja road enkeera wa valentayinj nti yeewunyizza Mbidde okumwefuulira ng’ate abadde muninkiniwe gwe yawola n’enkudi ku doola 1000 kyokka natasasula.

Yagambye nti baasisinkanga mu wooteeri satu okulya ebintu zino tukyazisirikidde.

Mbidde ebintu byamwonoonekedde ku lunaku lwa Valentine omuwala Ono bwe yamulumbye namusaba amusasule olw’enkudi ye gye yamuwola kyokka n’atasasula.

Bino okubaawo Mbidde yabadde ne mukyalawe omugole Phiona Nayebale ngabagenze okwewaamu.

Omuwala Mutoni anyonyola nti gyebuvuddeko yakwatagana ne Mbidde ku.massimu ne bateesa amufunire omulimu era nalinya bbaasi okuva e Rwanda nti kyokka bwe yatuuka kuno Mbidde kwekumuyegeeza nti bulooka w’omulimu yali yeetaaga doola 3000.

Yamuwaako doola 2000 mu kaasi ate olwo kigambibwa nti Mbidde namumatiza basanyukemu amuwe 1000 ezisigsddeyo era ne bapepeya kyokka omulimu teyafuna ng’awamu abadde abanja Mbidde doola 3000 era okumusalako mu wooteeri bwe yabadde n’omugolewe zeyabadde ayagala.

Mutoni eyabadde ayitayita ku hotel emu e Kololo ku lwa Valentine nalengera mmotoka ya Mbidde.

Yabuuzizza abakola wano ne bamulengeza Mbidde watunde kyokka ng’ali ne mukaziwe.

Mutoni yasabye Mbidde adde ebbali boogeremu kyokka Mbidde n’ategeeza nti tamumanyi wano Mutoni kwekunyiga n’ayasa byonna ebigambibwa nti babadde bakolagana.

Kyokka Mbidde yategeezezza nti ye omuwala Ono tamumanyi era nayita mangu poliisi eyamututte ku Poliisi ya Jinja road gye yasuze nga yaguddwako omusango gw’okutiisatiisa Mbidde ne Ffamireye ekintu Mutoni kyawakanya.

Guli ku fayiro nnamba SDREF 70/14//02/2025.

Mutoni yayimbuddwa ku kakalu ka kkooti nga yeeyanjula nga bwe yalagiddwa.

Ensonda ku Poliisi ya Jinja road yategeezezza nti Mbidde bamulinze ku Lwomukaaga ne Mmande ayongere okutangaaza kyokka yabadde tanagendayo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yakakasizza ebya Mbidde okuwabira Mutoni n’agamba nti okunoonyereza kugenda mu maaso.

Mbidde tumunoonya ayongere okubaako byatagaaza bannamawulire b’omukutu guno kyokka tetunamufuna.

Mutoni 24 , muwala Munyarwanda , mubalagavu era bwakuyimirira mu maaso oba okukuwa omukisa me mwogera layivu ku ssimu n’okwogera ku byomukwano oyinza obutasigala kyekimu.

Mbidde waliwo ebigambibwa nti musajja alidde obulamu ne Katonda namuwa abaana nti kyokka abamu akoma ku kubawa manya.

Mu bano mulimu ne gwe yazaala mu mukyala kalaala munnawulire kyokka yakoma ku kuwereza manya mu ddwaliro naguno guliko.