Connect with us

News

Ebitiisa Ku Babbi 6 Poliisi Beyasse: Diiru Yabadde Ya Bukadde 500

Published

on

Bya Angel Lubowa

Kololo

Abanyazi 6 abasindiriddwa amasasi bwe baabadde bateeze okubba obukadde 500 ku banka ya Stanbic bank e Kololo basoose kutuuza nkiiko ez’ekyama okuluka olukwe luno.

Bano beebamu ku kibinja ky’abanyazi abakozesa anajambiya, ebiso, kamulaali , pikipiki n’emmundu okunyaga ssente .

Basinga kunyaga abantu bebalondoola nga bagya ssente mu banka, aba Mobile money oba abasuubuzi.

Okusinziira ku poliisi mu Kampala, abanyazi bano baabadde balondodde omugagga eyabadde ava okugya ssente obukadde 500 mu banka eno esangibwa ku Acacia mall ku Kiseminti ku nsalo ya Kololo ne Kamwokya.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Rusoke Kituuma, bano baabadde balina anajambiya, kamulaali ne pikipiki era baabadde betasuddemu.

Abamu baabadde bateegedde ku sundiro ly’amafuta okuliraana banka ate nga abalala bateegedde ku Tagore road.

Kigambibwa nti waliwo n’ababadde bateegedde ku siteegi e Kamwokya n’emmundu okuyambako singa wabaawo ekiremesa.

Kyokka poliisi n’ebitongole by’okwerinda byabadde bigudde mu lukwe luno era baasanze babetegekedde amasasi ne gesooza okukakana nga mukaaga bafu.

Abamu batiddwa ku sundiro ly’amafuta nga bana ate abalala babatidde ku Tagore road ne Kamwokya.

Poliisi yategeezezza nti abatiddwa beebamu kwabo ababadde ku lukalala lwa poliisi okwababbi b’emmundu abataseka.

Egambye nti ebisingawo okuli amanya , olukwe n’obunyazi obulala bwe bazze benyigiramu ejja kubitegeeza eggwanga.

Bino webigyidde ng’ababbi besomye okubbisa emmundu n’okutta mu Kampala n’ebitundu ebirala naddala aba mobile money.