Bya Angel Lubowa
KAMPALA
WALIWO ebipya ebizuuse ku nfa y’omwana ow’emyaka ebiri agambibwa okuva mu kayina n’afa ekyawaliriza poliisi okukwata maamawe abitebye.
Kino kidiridde omwana Nganwa Rugari ow’emyaka ebiri n’ekitundu okufa mu ngeri eyalese ebibuuzo ku wikendi bwe yafudde ng’asigadde ne nnyina Jolin Dusabe Mutesi 40, ewaka n’omukozi w’awaka.
Kitaawe w’omwana Chris Rugari nga mukungu era omusuubuzi n’aba ffamire baakitadde mangu ku maama okubaako ne kyamanyi ekisingawo era maama n’omukozi w’awaka batemeza mabega wa mitayimbwa.
EBIPYA EBIZUUSE
Kati okunoonyereza kugamba nti bbebi okuva mu kalina ku mwaliro ogusooka agwe wansi yeemuludde ku nnyina nayingira ekisenge gye yasanze ngeddirisa liggule .
Bbebi mukiseera ekyo yabadde azanyisa akasimu ka katooki akaguddeyo wansi era wakati mu kwagala okukagoberera naye nagwayo era nakosebwa ekyavuddeko okufakwe.
Maama w’omwana ne hawusigaalo eggulo baategeezezza poliisi n’abamawulire nti omwana yafudde ntaanya olwakabenje kokugwa akaguddewo.
Maama w’omwana yategeezezza nti ” Kinuma okufiirwa omwana wange Oyo yenna ate ne wabaawo abataputa ebintu obulala. Tewali muntu ayinza kuba ngayagala omwana okusinga nze eyamusindika nomuwa obulamu. Omwana wange yanfuddeko mu kabenje bwe yagudde ekigwo”

Maama Womwaana
Yayongeddeko nti , ” Nganwa abadde yeemakula ennaku zino ng’omwana agenze akulamu era hawusigaalo yeeyasoose okungamba nti omwana yayize okugenda mu luumu eyo ebadde tenagwa ngerimu eddirisa eryokusetula kyokka nge teririimu mitayimbwa.
Mukiseera ekyo nga hawusigaalo agenze kwebaka ate nga nze nefulukuta okunoonya ekisumuluzo nsibewo eddirisa n’ekusenge omwana yeesolesezza ekisenge ngazanyisa akasimu akagudde wansi wabweru naye nagenderako ndowooza mu kwagala okugyayo era nze eyabadde mu kisenge kyange nawulidde aguddeyo ne mpapa okuyita hawusigaalo ne tumuddusa mu ddwaliro” maama bakira bwanyonyola.
Maama mukiseera kino ali mu kattu kubanga bba eyasangiddwa nga balina obutakkaanya era nga bali mu kkooti omwami gyayagala bawukane alowooza nti okufa Kwa bbebi kulimu nnyina ekintu maama kyawakanya.
Mukiseera kino maama baabadde bakyamulemesezza nokuyonsa bbebi we omuto addibwako omugenzi.
Poliisi ku Lwokusatu yazeeyo mu Maka ewabadde enjega eno agasangibwa e Mutungo zooni 8 okwetegereza obujulizi, ebyogerwa enjuyi zombi esobole okuzimba fayiro etekuubidde.
Oluvanyuma lwokola bino poliisi yakyusizza hawusigaalo eyabadde asibiddwa ku poliisi ya Kira road nemugatta ku maama w’omwana eyabadde asibiddwa ku poliisi ya Jinja road era bombi webakyali.
FFAMIRE EYOGEDDE
Bbo aba ffamire yomukazi baategeezezza nti baagala poliisi nabakugu bakola okunoonyereza okwobwesimbu nti kubanga baawukiddeko nti waliwo abagala okulalambaza ensonga.
Omu ku bafamire yagambye nti bakimanyi nti Mutesi tayinza kutta mwana gwe yeezaalira ate ng’abadde amugye n’ewabi nti bakyalowooza nti byanyonyola ku nfa y’omwana byebituufu.
Basabye ne mukodomi abeere nwerufu munsonga zino aleme kuzigatta mu byokwawukana ebisangiddwa mu kkooti.
Ebyokwawukana ebiri mu kkooti Kigambibwa nti byadirira omwami okukebeza abaana babwe abakulu abasatu ku DNA nakizuula nti omu yekka yeeyali owuwe.
Kino kyawaliriza kkooti okulagira nababiri abasembayo okuli eyafudde ne bbebi ayonka nabo bakeberebwe wabula ku lunaku lwe baabadde bagenda okubakeberera oli kweyafiridde.
Kino nakyo Kyabadde kyongedde okuleetawo okutebereza okulala kyokka Omulambo bwe gwakebeddwa DNA kigambibwa nti kyazuuse ngomwami yabadde amuzaala.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yagambye nga bino byakagwawo nti poliisi eteekwa okunoonyereza okuzuula ekituufu.