Connect with us

News

Ebizuuse Ku Muwala Omudigize Eyafiridde Mu Bbaala Bitiisa, Yasoose Wa Mugagga_ Poliisi Emukunyizza

Published

on

Bya Angel Kubowa

KAMPALA

Ebipya ebizuuse ku muwala wa yunivasite omucakaze Martha Ahumuza 23, bitiisa bwekizuse nti okugenda mu bbaala gye yafiridde Yasoose kubeerako Waka wa mugagga.

Omugagga ono, Eria Mubiru kati naye okubuuliriza kumuzingiddemu era ku Lwokubiri mu ttuntu poliisi yamukunyizza ayogere bwebakoze n’omugenzi nebyabaddewo ngamukyazizza.

Ahumuza olwavudde ew”Omugagga ekiro kya March 19 ku ssaawa nga musanvu ekiro yayolekedde ebbaala ya Mezzo Noir e Kololo natandika okunywa ne mukwanogwe omulala akola mu kifo kino era yazirikidde mu ofiisi ye okufa.

Omugenzi muwala wa
Mw Sezi Murari, ng’ono yakulira eby’amawulire ku ofiisi ya Pulezidenti Museveni ey’e Kyambogo eta Office of the National Chairman of NRM (ONC) ekukirwa Hajjat Namyalo.

Wadde abasawo abamusooseko mu ddwaliro bagamba nti yabadde anywedde nyo ngalina nekizibu ku bwongo olwembeera gyeyabaddemu alipoota enzijuvu tenavaayo kyokka waliwo okwekengera ku ludda lwa ffamire nti wayinza okubaawo ekyamukoleddwa mu bifo gye yasembye okubeera omuli amaka, wooteeri n’aabbaala gye yabadde era poliisi kati ekola Kiro na misana okuzuula ekituufu.