Bya Angel Lubowa
Kampala
Ebya Dr Kiiza Besigye ne mukwanogwe Hajj Obeid Lutale bwe baawambibwa e Nairobi omwaka oguwedde byonoones kkooti Enkulu bwegobye okusaba kwabwe okweyimirirwa.
Mu nsala ya kkooti eyalese bannamateeka , bannabyabufuzi n’abawagizi ba Dr Besigye nga beemulugunya omulamuzi yagambye nti wadde Besigye ne munne batuukiriza ebisanyizo naye omusango gwe baliko gwa byakwerinda bwa ggwanga ebisinga eddembe lyabwe ery’obuntu okusaba be kugobwa.
Okusaba kwabwe kwabadde kuwulirwa omulamuzi Rosette Kania Comfort.
Kwatwalibwayo bannamateeka oluvanyuma lwomusango gwa Besigye ne munne okugyibwa mu kkooti z’amagye nga kkooti ensukulumu ezikubyemu ebituli olwo Besigye ne munne ne baddamu okuvunaanibwa mu kkooti ento e Nakawa.
Eno olw’okuba terina buyinza kuwulirwa musango guno ogwa naggomola balooyabe basaba kkooti enkulu ekkirize yeeyimirirwe awoze ngava bweru kyokka kkooti yagaanye.
Besigye avunaanibwa okulya mu nsiye olukwe ne munne n’okuzibira olukwe luno.
Yawambibwa kuva mu wooteeri e Kenya nga kigambibwa nti omupango yagukukira mu mawanga okuli Singapore, Greece ne Switzerland.
Byonna bino Besigye ne munne babuegaana.
Mu kkooti eyabadde ejudde n’efuuwa okusaba Okweyimirirwa kwagobeddwa wabula ba puliida be abakuliddwa Meeya Erias Lukwago bagambye nti bagenda kujulira.