Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Bannamateeka nga bakulembeddwa omubaka Yusuf Nsibambi (Mawokota South) ne Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago bagambye nti ab’akabondo ka NRM okuleeta enongosereza okutereeza kkooti z’amagye basikira nkoko binyebwa.
Bagambye nti kkooti ensukulumu kye yasazeewo kwabadde kulangirira nti kkooti z’amagye zimenya ssemateeka nti nolwekyo tewali nongosereza esobola kugyawo kino.
Bwe yabadde ayogerera ku CBS FM ku Lwomukaaga ku pulogulaamu ya “palamenti yaffe “, Nsibambi yagambye nti yeewunyizza ssabawolereza wa gavumenti Mw Kiryowa Kiwanuka obutawabula bulungi kabondo ka NRM.
” Kiwanuka nze namusomesa amateeka simanyi Lwaki tawabula ebituufu. Kkooti z’amagye kkooti ensukulumu yagambye zimenya ssemateeka n’olwekyo enongosereza teziwonya kino mpozi akalulu akekikungo” Nsibambi bwe yagambye.

Omukulembeze wegwanga Yoweri Kaguta Museveni
Kino kidiridde olukiiko lw’akabondo ka NRM olwakubiriziddwa Pulezidenti Museveni e Ntebe ku Lwokutaano okulagira Kiwanuka okusooka okugyayo enongosereza mu tteeka lya UPDF eribadde mu palamenti ayongeremu ebirala okusobola okunyweza kkooti z’amagye ezayimiriziddwa okuwozesa abatali bajaasi mu nsala ya kkooti ensukulumu.
Nampala wa gavumenti minisita Denis Hamson Obua yagambye nti baagala kkooti z’amagye zibeere mu mateeka nga kkooti ensukulumu bwe yalungamizza.
Kyokka Nsibambi yagambye nti enongosereza betese okuziwakanya mu palamenti kubanga kkooti kye yagambye kirala nti NRM bwenekozesa obungi bwababaka baayo mu palamenti bakuddukira mu kkooti bupya.
Lukwago yeeyasoose okulabula nti NRM byeyalagidde Entebbe tebiyamba era nasomooza gavumenti okuyimbula Dr Kiiza Besigye, Hajj Obeid Lutale, aba NUP n’abantu babulijjo abalala abaasibwa kkooti z’amagye.
Wabula Pulezidenti Museveni azze ategeeza nti kkooti z’amagye ziyambye nyo okulwanyisa abakozesa emmundu okujojobya bannansi nti omuntu akozesa emmundu nga simunamagye ateekwa okuvunaanibwa eyo kyongere okukomyawo emirembe nga bwekiri e Karamoja.