Connect with us

News

Ekiragiro Kya Kkooti Kisattiza Amagye, Besigye Talabiseeko

Published

on

Bya Angel Lubowa

MAKINDYE

Ekiragiro kya kkooti ensukulumu okuyimiriza kkooti z’amagye okuddamu okuwozesa abatali Bajaasi ky’ongedde okusaza amagye entotto era Dr Kiiza Besigye ne Hajj Obeid Lutale tebaleeteddwa mu Kkooti.

Bombi bano baabadde bakuleetebwa mu kkooti eno ku Mmande nga January 3, 2025 wabula kkooti ensukulumu wiiki ewedde meyimiriza kkooti z’amagye okuddamu okuwozesa abatali bajaasi.

Omwogezi w’amagye Maj Gen Felix Kulayigye yategeezezza ku CBS FM nti baabadde bakyekenenya ensala ya kkooti ensukulumu.

Ku kkooti y’amagye tewadde leebuleebu akulembeera okuleetebwa kwa Dr Besigye era waliwo abajaasi abategeezezza nti baabadde tebamusuubira.
Amawulire agatali matongole gagambye nti yandiretebwa wiiki ejja.

Kyokka munnamateekawe Hajj Erias Lukwago nga ye loodi Meeya wa Kampala yagambye nti ekiragiro Kya Kkooti kyagyeko kkooti z’amagye obuyinza ku Besigye era yabadde simwetegefu kudda Makindye.

Lukwago ne banne baakedde ku offisi za Besigye ku Katonga road mu Kampala okumulindirira n’okutema empenda ezimubanja okuva e Luzira mu kkomera.

Bino bigenda mu maaso nga Pulezidenti Museveni yavumiridde okusalawo kwa kkooti ensukulumu n’agamba nti abalamuzi sibebokka abafuga ensi eno era nayomgerako nti kkooti zino okuwozesa abatali bajaasi kyokka nga bakozesa emmundu kyaleetebwa kulwanyisa bumenyi bw’amateeka era ekireseewo emirembe.
Yasuubizza okutereeza amateeka kkooti z’amagye zisigalewo .