Connect with us

News

Ensi Yonna Ekungubagidde Paapa Francis Etafudde Ku Easter Mmande, China Ekyerowooza

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Abakulembeze okuva mu.nsi yonna bakyagenda mu maaso n’okukungubagira Paapa Francis eyafudde ku Easter Mmande.

Ono okufa Yasoose kusabira nsi mikisa mu missa eyabaddemu n’okugobererwa obukadde n’obukadde bw’abantu mu kibangirizi Kya Lutikko y’e Basilica mu Vatican ku Easter Sunday.

Ekiwandiiko ekitongole okuva e Rooma kyategeezezza nti Paapa Francis yafudde puleesa n’okusanyalala okwamangu.

Abadde wa myaka 88 era okumala akabanga abadde mulwadde ng’abadde yakasibulwa era ng’abasawo baali baamugaanye okusooka okudda ku mirimu amangu.

Paapa Francis eyagenyiwalako ne mu Uganda mu 2015 okufakwe kukubye bangi encukwe era obubaka obukubagiza buktayiika nga mazzi okuva mu nsi yonna.

Pulezidenti Donald Trump yamaze omulangira bwateekwa okuziika ku paapa.

Kyokka China yo yabadde tenavaayo kukungubagira Paapa Francis olw’embiranyi gyerina ne Vatican.

China yagaana Vatican okulonda ba Kalidinaali e China nga tebamaze kubeebuuzaako ekintu Ekelezia Katolika kyetakola kubanga Paapa yasalalawo era enteseganya ku nsonga eno zibadde zigenda mu maaso.

Kyo ekiri e Vatican kayisaanyo na kukungubaga kwereere era Bakalidinaali okuva mu nsi yonna bakutuula mu bwangu okusalawo olunaku lwanaziikibwa.

Kino kisuubirwa okubaawo mu Nnaku ezitasuka 10 n’oluvanyuma Bakalidinaali 135 abatasusa myaka 85 beetsbe mu kulonda Paapa omupya. Paapa omugenzi abadde nzalwa y’e Argentina mu Latin America.