Bya Angel Lubowa
Kanungu
Abalemedde ku kulya ssente okuva ku bamemba ba SACCO ez’enjawulo mu ggwanga mulindirire okusibwa kubanga bambega ba State House Anti corruption unit ne poliisi bali bulindaala okulwanyisa omuze guno.
Woosomera bino ng’omuwandisi w’ekibiina kya SACCO e Kanungu atemeza mabega wa mitayimbwa.
Kamugisha William abadde omuwandisi wa Kambuga PDM SACCO esangibwa mu central ward ,mu disitulikiti y’e Kambuga PDM SACCO in Kanungu nga kkooti yamukalize dda mu kkomera.
Ono yavunaaniddwa omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju okuva ku bantu ababadde basaba ssente za PDM.
Abadde abalagira okumuwa ssente okusobola okubakolera ku by’okufuna ssente za SACCO ekimenya amateeka.
Mu maaso ga kkooti y’omulamuzi e Kanungu gye yatwaliddwa oluvanyuma lw’okukwatibwa bambega b’ekitongole mu maka g’obwapulezidenti nga bali wamu ne poliisi n’ofiisi ya DPP emisango yakkiriza era kkooti n’emukaliga abalala bamuyigireko.
Byo ebikwekweto by’okukwata abazzanyira ku ssente za PDM wonna mu ggwanga bikyayinda.