Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Ekelzia Katolika mu Uganda n’abagoberezi ba munsenyori ( Msgr) Expedito Magembe abadde agoba emizimu eyafudde.
Msgr Magembe ayatandikawo ekifo kya Mount zion prayer centre , Bukalango okumpi ne Kakiri mu disitulikiti y’e Wakiso yeeyavudde mu bulamu bw’ensi Eno.
Omugenzi abadde amanyiddwa okusabira abantu abaliko.emizimu, ebifiini nebirwadde ebirala ne bawona era abadde asaba mu ngeri eyekirikole ekibadde kimufudde omuganzi mu Bakatuliki ne Ekelzia Katolika.
Abadde n’essaala ezamaanyi kyokka Katonda yasazeewo namujjulula.
Omu ku bayambibe yategeezezza eggulo nti Magembe amaze ebbanga nga mukosefumu.
Gyebuvuddeko waliwo abamubika kyokka kwolwo yali akyali mulamu era Ekelzia yavaayo netangaaza.
Enteekateeka z’okuziika n’ebirala mubirindirire.