Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Akulira ekibiina ekigatta Abanyarwanda Bannansangwa mu Uganda abeeyita Abavandimwe abakunze okuwagira Pulezidenti Museveni mu kulonda okujja nti kubanga naye ababeereddewo.
Gashumba agambye nti ” enjogera y’akuwa gw’owa” erina okusibwa mu nkola Abavandimwe balage nti baabadde basiima Pulezidenti Museveni okubalwanirira.
Ebigambo bya Gashumba bidiridde Pulezidenti Museveni okuyisa ekiragiro ekyenjawulo gyebuvuddeko nga kirungamya ebitongole ekikola kukugaba endagamuntu ekya NIRA n’ekigaba Paasipoota okukomya okutulugunya Abanyarwanda Bannansangwa.
Abavandimwe okumala ebbanga batandika okwemulugunya nti wadde nabo Bannayuganda era nga ssemateeka abogerako nti kyokka basosolebwa mu kufuna endagamuntu ne Paasipooti oba okuzibawambako.
” Wabaddewo abeeyita ba Katonda mu NIRA ne gyetufunira Paasipoota. Oli nakumma Paasipoota nti ogende ogifune e Rwanda oba endagamuntu kyokka ng’oli Munnayuganda .
Bano baabadde mu bugenderevu tebagala kwawula Munyarwanda nansangwa n’ooyo eyakava e Rwanda kyokka bino byonna ekiragiro kya Pulezidenti kyabiterezezza” Gashumba bwe yagambye.
Yawadde buli Muvandimwe addamu okutulugunyizibwa mu ngeri yonna mu ofiisi za Paasipooti ne NIRA obutaddamu kwetulako kubanga Pulezidenti eyawadde ebiragiro yasembayo okuba n’obuyinza mu ggwanga nga kitegeeza nti biteekwa okuteekebwa mu nkola.
Wano yeyakungidde buli Munyarwanda oba Omuvandimwe nabo okuwagira Pulezidenti Museveni mu kulonda okwengedde mu 2026 kubanga nti yeengeri yokka gye basobola okumwebazaamu.
Uganda erimu Abanyarwanda oba Abavandimwe abali eyo mu bukadde n’obukadde wadde ng’okubala abantu okwakaggwa kwabasizaako nga kirowoozebwa nti abamu baabadde beekyusa amanya oba amawanga olw’embeera gye babaddemu nga Pulezidenti tanasitukira mu bizibu ebibadde bobasuza nga bakukunadde nga Lumonde mu kikata.