Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Imaamu abadde yatabula Abayisiraamu mu nsi yonna bwe yeerangirira nti Musiyazi era n’atandikawo ekitebe okutaba abasiyazi abayiganyizibwa bamusindiridde amasasi agaamutiddewo.
Muhsin Hendricks 57,abadde amanyiddwa nga Imaamu eyasooka okwerangirira munsi yonna nti Musiyazi abadde addukanya omuzikitigwe mu kibuga Cape Town mu South Africa.
Baamusse ku Lwomukaaga kumakya abasajja babiri abaabadde beesibye obukokoolo bwe baabuuse mu mmotoka ne basindirira eyiye amasasi agokumukumu mu kibuga ky’e Gqeberha ne babulawo.
Okusinziira ku kitongole kya BBC, kigambibwa nti omukulu okumutta yabadde ava kugatta bagole abasiyazi mu kitundu ekyo.
Ekibiinakye ekya Al Ghurbaah foundation ekibadde kiddukanya omuzikitigwe ogwa Masjidul Ghurbaah kyategeezezza nti okufakwe kubakubye Wala.
Kyokka Ono abadde anafuya obusiraamu n’okutegeeza nti eddiini sikomera abadde yategeeza mu 1996 nti okwogera kyawulira nti kyekituufu kimusingigira okutya okutibwa.
Basiyazi banne okuva ku Lwomukaaga bali mu kumukungubagira.