Connect with us

News

Kkooti Ensunkulumu Eyimiriza Kkooti Z’amagye Okuwozesa Abatali Bajaasi

Published

on

Bya Angel Lubowa

Kampala

Kkooti ensukulumu esazeewo eggoye ku kya kkooti y’amagye okuddamu Okuwozesa abantu babulijjo n’okuwulira emisangi egyamaanyi.

Eragidde emissngo gyonna egibadde gigenda mu maaso gigyibweyo gizibwe mu kkooti ezabulijjo ate egyo egyasalwa kkooti entuufu eziwozesa emisango egyabulijjo zigyetegereze.

Mu nsala yaayo mu Kampala, ssaabalamuzi Alphonse Owiny Ddollo akkanyiza ne banne kkooti y’amagye eterezebwe mu mateeka ebeere ng’okulondebwa kwayo kugoberera emitendera nti wadde kkooti y’amagye eriwo.mu.mateeka kyokka ebulamu obukugu n’obwetengereze okuwozesa emisango egy’amaanyi wadde mu Bajaasi benyini beyajirira.

Kino kitegeeza nti omusango nga ogwa Dr Kiiza Besigye ne munne Hajj Obeid Kamulegeya bwe babadde bavunaanibwa mu kkooti y’amagye bagenda kugyibwayo bawozesebwe mu kkooti ezabulijjo nga bwe babadde bakyagala.

Ate looyawe Eron Kiiza eyasibwa kkooti y’amagye gye buvuddeko naye abeera ayina okuyimbulwa okuva mu kkomera e Kitalya gy’abadde ku kibonerezo kya myezi mwenda.

Ensala eno ediridde ssaabawolereza wa gavumenti , Kiryowa Kiwanuka okujulira mu kkooti Ensunkulumu okuvanyuma lwa kkooti etaputa ssemateeka eyalamula mu 2021 nti kkooti y’amagye teyalina buyinza kuwozesa abatali Bajaasi.

Abamu ku balamuzi bano kwabaddeko Percy Night Tuhaise , Catherine Bamugemereire , n’omulamuzi Elizabeth Musoke .