Connect with us

News

Kkooti Esindise 8 Ku Alimanda Lwakubba Takka N’okwonoona Ebintu

Published

on

Bya Angel Lubowa

ENTEBBE

Kkooti ento mu kibuga ky’e Ntebbe mu disitulikiti y’e Wakiso eriko abantu 8 beevunaanye emisango gy’okubba ettaka, okwonoona ebintu ebyaliko n’okubibba.

Abavunaanibwa kigambibwa nti nga January 21 omwaka guno bakidde yiika 18 kwezo yiika 68 ku ttaka erisangibwa ku bulooka 428 , puloti 192 ng’eno yava mu poloti 22 erya pulofeesa Eleanor Maxine Ankrah ne baliwamba n’ okulibba.

Batandika nakusaawa kibirakye kya yiika 18, n’okwonoona ebyaliko n’okubitunda ne batandika okwegabanya.

Abavunaaniddwa mu kkooti kuliko Sserungaya Alex Mukisa,Kajubi Peter, Ddungu Henry, Nnaku Ramanthan, Kaweesi Godfrey, Ngesa Robert, Mukiibi Asuman,ne Joseph Mugweri gattako abalala abakyaliira ku nsiko.

Kigambibwa nti ettaka lino kwaliko entegeregana ya kkooti enkulu eragira pulofeesa okubasalirako yiika 18 kyokka ewatali kumulinda bbo basalawo bazegabire N’okwonoona ebintu ate ekimenya amateeka.

Kino kye kyavaako bambega okuva mu kitongole okuva mu maka g’obwapulezidenti ekirwanyisa enguzi ekya State House Anti corruption unit, poliisi n’ofiisi ya DPP okusitukiramu ne bayoolebwa.

Abakwate kkooti yategeezeddwa nti balagirwa bannabwe ab’ebibanja okwali William Lutaaya, Nalongo Kaita Bakumba Winfred, Edward Kalenzo, Osowa Anthony ne Robert Kayigwa.

Kyokka abavunaanibwa emisango bagyegaanyi kkooti n’ebasindika ku alimanda okutuuka nga 28 February omwaka guno.