Connect with us

News

MBIDDE AGULA ENKUDI? Omuwala Aleese Bwiino Atiisa Bweyamuwola Akaboozi N’atamusasula

Published

on

Bya Basasi Baffe

KAMPALA

Abadde omubaka mu palamenti y’omukago gwa East Africa, Fred Mukasa Mbidde ebintu byamwonoonekedde ku lunaku lwa Valentine omuwala bwe yamulumbye namusaba amusasule olw’enkudi ye gye yamuwola kyokka n’atasasula.

Bino okubaawo Mbidde yabadde ne mukyalawe omugole Phiona Nayebale ngabagenze okwewaamu.

Bwiino Atiisa

Omuwala Mutoni Beyise anyonyola nti gyebuvuddeko yakwatagana ne Mbidde ku.massimu ne bateesa amusanyuseemu amusasule wakiri doola 3000 kyokka nga zaali zamuwebwa luvanyumako kyatakola.

Agamba nti agezezaako okubanja Mbidde kyokka ng’amuwanvuya n’essimu n’agigirako ddala.

Kaakati Mutoni yabadde ayitayita ku hotel emu e Kololo ku lwa Valentine kwe kulengera mmotoka ya Mbidde.

Yabuuzizza abakola wano ne bamulengeza Mbidde watunde kyokka ng’ali ne mukaziwe.

Mutoni yasabye Mbidde adde ebbali boogeremu kyokka Mbidde n’ategeeza nti tamumanyi wano Mutoni kwekunyiga n’ayasa byonna ebigambibwa nti babadde bakolagana.

Kyokka Mbidde yategeezezza nti ye omuwala Ono tamumanyi era nayita mangu poliisi eyamututte ku Poliisi ya Jinja road gye yasuze nga yaguddwako omusango gw’okutiisatiisa Mbidde ne Ffamireye ekintu Mutoni kyawakanya.

Guli ku fayiro nnamba SDREF 70/14//02/2025.

Mutoni yayimbuddwa ku kakalu ka kkooti nga yeeyanjula nga bwe yalagiddwa.

Ensonda ku Poliisi ya Jinja road yategeezezza nti Mbidde bamulinze ku Lwomukaaga ne Mmande ayongere okutangaaza kyokka yabadde tanagendayo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yakakasizza ebya Mbidde okuwabira Mutoni n’agamba nti okunoonyereza kugenda mu maaso.

Mbidde tumunoonya ayongere okubaako byatagaaza bannamawulire b’omukutu guno kyokka tetunamufuna.

Ebitonotono ku Mutoni

Mutoni 24 , muwala Munyarwanda , mubalagavu era bwakuyimirira mu maaso oba okukuwa omukisa me mwogera layivu ku ssimu n’okwogera ku byomukwano oyinza obutasigala kyekimu.

Mbidde waliwo ebigambibwa nti musajja alidde obulamu ne Katonda namuwa abaana nti kyokka abamu akoma ku kubawa manya.

Mu bano mulimu ne gwe yazaala mu mukyala kalaala munnawulire kyokka yakoma ku kuwereza manya mu ddwaliro naguno guliko.