Bya Musasi Waffe
NAKAWA
Maama wa Bbebi ow’emyaka ebiri n’ekitundu agambibwa okugwa mu kalina e Mutungo poliisi n’ekwata nnyina ne hawusigaalo n’ebavunaana ogw’obuttemu ayongedde ebikambwe mu kkooti.
Jolin Kenoheri Rugari 40, ( Dusabe Mutesi nga bwe yasoose oluyitibwa)yakozesezza omukisa mu kaguli okutegeeza kkooti n’ensi yonna nti teyatta mwanawe Nganwa Rugari nga bwekimusibwako.
Yagambye nti bbebi wange Oyo gwenzigye ewala yasirittuse nagwa kubanga eddinisa mu kisenge mweyavudde eryokusetula teryabadde lisibe.
Ebizibu by’okufakwe bisanze tulina olutalo ne bazze Chris Rugari ayagala okungoba mu Maka gaffe era SITEETIMENTI zenakoze neya hawusigaalo baazikuttemu. Bananga bwemage nga nomwana wange yafudde kati nnina obulumi bwamirundi ebiri kyokka Katonda nsaba asaasire amazima gaveeyo.
Olwo kkooti yabadde ekubyeko Lwokutaano abantu okwabadde aba ffamire zombi ey’omwami n’eyomukyala, emikwano , abantu babulijjo n’abalwanirizi bobwenkanya.
Okwogera bino omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti e Nakawa ,Frank Namanya yabadde amaze okusomera omukyala Ono omusango gw’,okutta omwanawe ng’amubuuzizza oba agukkiriza.
Oluvanyuma lw’ebigambo ebyo ebyakutte ku bantu omulamuzi yamuwabudde nti ajja kubiwoza ng’omusango gutuuse mu kkooti enkulu kubanga Eno ento telina buyinza kuwulira musango mizito egya nnagomola.
Yasindise Kenoheri ne hawusigaalo Robina Nabbanja ku alimanda okutuusa nga May 6, 2025 .
KENOHERI YASOOSE KWOGERA NG’ALI KU POLIISI
Maama yategeezezza nti bbebi okuva mu kalina ku mwaliro ogusooka agwe wansi yamwemuluddeko nayingira ekisenge gye yasanze ngeddirisa liggule .
Nti bbebi mukiseera ekyo yabadde azanyisa akasimu ka katooki akaguddeyo wansi era wakati mu kwagala okukagoberera naye nagwayo era nakosebwa ekyavuddeko okufakwe.
Maama w’omwana ne hawusigaalo baategeezezza poliisi n’abamawulire nti omwana yafudde ntaanya olwakabenje kokugwa akaguddewo.
Maama w’omwana yategeezezza nti ” Kinuma okufiirwa omwana wange Oyo yenna ate ne wabaawo abataputa ebintu obulala. Tewali muntu ayinza kuba ngayagala omwana okusinga nze eyamusindika nomuwa obulamu. Omwana wange yanfuddeko mu kabenje bwe yagudde ekigwo”
Yayongeddeko nti , ” Nganwa abadde yeemakula ennaku zino ng’omwana agenze akulamu era hawusigaalo yeeyasoose okungamba nti omwana yayize okugenda mu luumu eyo ebadde tenagwa ngerimu eddirisa eryokusetula kyokka nge teririimu mitayimbwa.
Mukiseera ekyo nga hawusigaalo agenze kwebaka ate nga nze nefulukuta okunoonya ekisumuluzo nsibewo eddirisa n’ekusenge omwana yeesolesezza ekisenge ngazanyisa akasimu akagudde wansi wabweru naye nagenderako ndowooza mu kwagala okugyayo era nze eyabadde mu kisenge kyange nawulidde aguddeyo ne mpapa okuyita hawusigaalo ne tumuddusa mu ddwaliro” maama bakira bwanyonyola.
Poliisi ku Lwokusatu yazeeyo mu Maka ewabadde enjega eno agasangibwa e Mutungo zooni 8 okwetegereza obujulizi, ebyogerwa enjuyi zombi esobole okuzimba fayiro etekuubidde.
Oluvanyuma lwokola bino poliisi yakyusizza hawusigaalo eyabadde asibiddwa ku poliisi ya Kira road nemugatta ku maama w’omwana eyabadde asibiddwa ku poliisi ya Jinja road era bombi webakyali.
FFAMIRE EYOGEDDE
Bbo aba ffamire yomukazi baategeezezza nti baagala poliisi nabakugu bakola okunoonyereza okwobwesimbu nti kubanga baawukiddeko nti waliwo abagala okulalambaza ensonga.
Omu ku bafamire yagambye nti bakimanyi nti Mutesi tayinza kutta mwana gwe yeezaalira ate ng’abadde amugye n’ewabi nti bakyalowooza nti byanyonyola ku nfa y’omwana byebituufu.
Basabye ne mukodomi abeere nwerufu munsonga zino aleme kuzigatta mu byokwawukana ebisangiddwa mu kkooti.
Ebyokwawukana ebiri mu kkooti Kigambibwa nti byadirira omwami okukebeza abaana babwe abakulu abasatu ku DNA nakizuula nti omu yekka yeeyali owuwe.
Kino kyawaliriza kkooti okulagira nababiri abasembayo okuli eyafudde ne bbebi ayonka nabo bakeberebwe wabula ku lunaku lwe baabadde bagenda okubakeberera oli kweyafiridde.
Kino nakyo Kyabadde kyongedde okuleetawo okutebereza okulala kyokka Omulambo bwe gwakebeddwa DNA kigambibwa nti kyazuuse ngomwami yabadde amuzaala.