Bya Angel Lubowa
Enfaye etabudde banned kubanga yabadde agenda kutula diiru
Bannayuganda abawangaalira e South Africa babutikuddwa entiisa oluvanyuma lwa munnabwe okukubwa Amasasi agaamusse.
Ono ye Munnayuganda ow’okusatu okutibwa mu ngeri eyakavuyo mu ggwanga lino.
Salongo Vincent Ssali yew’okusattu okukubwa amasasi e South Africa mu bbanga lya myezi ebiri nga kiva ku ddiiru n’obubbi obw’emmundu obukudde ejjembe mu bitundu by’eggwanga lino ebitali bimu.
Ssali baamusse ngagenda kutula ddiiru agambibwa nti yamuyitiddwa mukwanogwe ffanfe awangaalira mu kibuga Pretoria bwatyo n’ava mu kitundu kye Tembisa gy’abadde awangaalira kyokka yabadde tanatuuka we yabadde alina okusisinkana mukwanogwe ono eyamuyise n’aggwa mu bazigu ab’emmundu abamukubye amasasi mu mutwe ne mu kifuba n’afiira mu ddwaliro e Pretoria abazirakisa gye bamuddusizza ng’ali mu mbeera mbi.
Ali Sekamate Ssentebe wa Bannayuganda abawangaalira mu kitundu kye Tembisa yagambye nti Ssali okutibwa yabadde aliko akayumba mukwanogwe keyamuyitidde okugula e Pretoria gye yagwiiridde mu bazigu abamusse.
Yagambye nti batandise ku nteekateeka ezokukomyawo kuno omulambo gwa Ssali asobole okuziikibwa ku biggya bya Bajjajjabe e Kyazanga era okwesondamu ssente nga bweri enkola yabwe kwabadde kugenda mu maaso.