Bya Angel Lubowa
Kampala
Nagagga Aga Khan ng’asibukira ddala mu layini ya Nabbi Muhamed are nga mukulembeze wa kiwayi kya Busiraamu afudde n’asigala ng’ensi emutendereza .
Ono ng’amanyage y’e Karim al Huseini y’abadde Aga Khan owa nnamba 49 kubanga ekifo ekyo kyansikirano.Afudde ensi emutendereza obukozi n’ omutima ogw’ekisa.
Yafiridde ku myaka 88 , eggulo nga bukya mu ddwaliro mu kibuga Lisbon mu ggwanga lya Spain.
Baamuzaalira mu Switzerland kyokka ng’abadde n’,obutuuze bwa Bungereza wadde ng’abadde awangaalira mu Bufaransa.
Omugenzi abadde ne bizinensi ezenjawulo omuli amakkampuni, ebizimbe, amassomero , yunivasite n’amatendekero mu nsi yonna era ye nnanyini kkampunj ya Nation Media group nannyini lupapula lwa Daily Monitor , Spark TV, Ddembe FM ne NTV mu Uganda ate e Kenya NTV n’olupapula lwa The Nation ne East Africa.
Mu Uganda era alina emigabo Ku banka ya DTB, kkampunj etuusa amasanyalaze mu West Nile, ebbibiro ly’amasanyalaze erya Bujagaali, Kampala pharmaceutical ne bizinensi endala.
Abadde mugabirizi ngayita mu bitongole bye ebiyambi obugaggabwe busoba mu kawumbi ka Ddoola za Amerika.
Yabadde akulira ekiwayi ky’Abasiraamu aba Ismailis abasoba mu bukadde 15 mu nsi yonna ng’abasinga basangibwa Pakistan, Buyindi, Afghanistan ne Africa.