Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Minisitule y”eby’obulamu etemeza ku bantu okuddamu okubeera obulindala oluvanyuma lw’obulwadde bwa Ebola okuzulibwa mu Kampala.
Buno bwamaze dda okutta omuntu omu ng’ono abadde musawo era ng’abadde akolera mu ddwaliro ekkulu e Mulago .
Omuwandisi ow’enkalakalura mu minisitule y’ebyobulamu Dr Diana Atwine yategeezezza eggulo nti Ono abadde abeera mu Kampala obulwadde bwe bwamukutte yagenzeko ebweru wa Kampala ate nakomawo nga tanamanya nti alina ebola kyokka oluvanyuma kyazuuse nti yeeye kyokka yafudde.
Waliwo abantu abasoba mu 30 ababadde ku lusegere naye abalondoolwa.
Minisitule yalabudde abantu okubeera ab’egendereza kubanga ebola okwata mu ngeri yeemu nga sirimu ne monkeypox mu bintu bya kwegadanga oba okuliraana Oyo amulina.
Ebola eyasooka okulumba Uganda mu 2000 azze akomawo kyokka n’alwanyisibwa nga guno mulundi gwa munaana ng”alumba.
Abakugu baagambye nti Ono ebola yasibuse Sudan kubanga olumu abeera avudde D R Congo.