Bya Angel Lubowa
Eyakoma okukola mu 2018 bamuvunaanye Kufunanga musaala mubukyamu.
Omusawo eyakoma okukola emyaka etaano egiyise kyokka ng’omusaala abadde akyagulya gamumyukidde mu kkooti bweyabadde avunaanibwa okwebulankanya ku mulimu n’okufuna ssente mu lukujjukujju.
Gloria Adokorach omusawo eyali akolera mu ddwaliro e Yumbe yeeyasimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi omuto mu kitundu kino eyamuvunaanye.
Ono kyategeezeddwa mu kkooti nti abadde amaze emyaka etaano nga takyakola kyokka ng’afuna omusaalagwe.
Yakoma okukola mu 2013 bwe yasaba liivu agende okweyingera okusoma kyokka ebbanga bwe lyagwako mu 2018 teyadda ku mulimu gwe kyokka ng’omusaala afuna.
Webaamukwatidde ng’alidde obukadde 40 .
Yakwatiddwa ab’ekitongole ekirwanyisa enguzi n’obukyake mu maka g’obwapulezidenti ekya State House Anti corruption unit nga kikolera wamu ne poliisi n’ofiisi ya DPP.
Emisango yagwegaanye ku Lwokuna bwe yabadde mu kaguli kwekusindibwa ku alimanda okutuusa nga March 13, omwaka guno.