Connect with us

News

Omuvubi Eyasigudde Omukazi Atasigulwa Yettidde Mu Nyanja

Published

on

Bya Angel Lubowa

BUVUMA

N’OKUTUUSA kati emboozi etiisa eri mu bizinga by’e Buvuma ye muvubi eyasigudde mukomusajja atasigulwa ne begadanga okumala ennaku ttaano wabula gye byakidde ng’omusiguze yesse.

Stephan Nanyungi 45 ssente zaabadde akola mu buvubi ng’azikozesa okukwana abakazi omuli n’abafumbo era mu bano mwemwagyidde ne ndibassa Amida Tebazire eyamuzaalidde ebyeru Makaayi byazaala ku nsiko.

Nanyungi ne Tebazire babadde bamaze ebbanga nga bagalana kyokka nga buli lwe basisinkana buli omu alekamu munne effumu okutuusa lwe bakkaanyizza beemale egogga mu ggandaalo lya Ssekukulu.

Amida abadde yafumbirwa Ronald Mubiru omutuuze mu kitundu kino.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Hellen Butoto yategeezezza nti Amida yalimbye Mubiru nti agenze mu bakaddebe kyokka eyo yamazeeyo ennaku ntono n’abasibula n’agenda ew’omusiguze ne bakyekola.

Nanyungi abadde mutuuze ku kyalo Gayaza mu Ziiru waadi mu Lyabaana Town council mu disitulikiti y’e Buvuma.

Mubiru bwe yalinze mukaziwe nga takomawo omugezigezi kwekumubbirako nti yabadde wa musiguze naye nasitukiramu okubalumba era yasanze basinda mukwano ebikonde ne bitokota.

Abamanyi ensonga zino baagambye nti Mubiru yakutte mukaziwe lubona ew’omusiguze era yabasanze basinda mukwano ogw’ekimemette.

Aboomuriraano beebayambyeko okutaasa Mubiru ku ssajja nga bwe bamunenya okusigula abakazi abafumbo kyokka yeewozezaako nti teyamanya nti Amida mufumbo.

Mikwano gya Nanyungi gyategeezezza nti ng’olutalo luwedde munnabwe ono yabadde ng’aliko eddogo nga yeewera nga bwagenda okwetta era n’atandika n’okugaba ebintu bye.

Ku Lwokubiri lwa wiiki eno Nanyungi yagenze ne yeesuula mu Nyanja n’afa era omulambo poliisi yagwekebezze n’azikibwa ng’abamu ku bakungubazi bawanuuza nti omugenzi yasiguddeyo atasigulwa.