Bya Angel Lubowa
KAMPALA
WALIWO ‘omuyizi omulala mu ssomero ery’ebbeeyi erya Elite High School ku lw’e Ntebbe Afudde n’asatizza abazadde n’abayizi.
Trevor Mango abadde omuyizi mu ssomero lino erisangibwa e Kitende Ku luguudo lw’e Ntebe eyafudde ekibwattukira ekintu ekyakanze abazadde n’abayizi.
Yoomu ku bakoze ebigezo bya S 6 omwaka oguwedde ku ssomero lino era n’ayita bulungi ng’abadde alindiridde kw’egatta ku yunivasite.
Okufakwe kudiriddwa ebigambo ebikubagiza n’ebikikinike ku mikutu gya sosolomidiya.

Omuyizi Trevor Mango
Wabula omu ku baaliko abakulembeze b’abayizi ku ssimero lino eyawangula engule ya Miss High School, 2024 ku Elite High School, Muky Amber Grace Birungi yategeezezza nti omugenzi asadde bangi.
Yamwogeddeko ng’abadde akolaganika naye n’asaba Katonda agumye aba ffamire n’okuwummuza omwoyo gw’omugenzi.
Omuyizi ajjukirwako ne mikwanogye ku ssomero lya Elite nga lyolesa emisono bwebajjira mu mammotoka ag’ebbeeyi abalala ne bapangisa nnamunkanga.
Mango weyafiridde nga waliwo omuyizi agambibwa okufiira Ku ssomero lya Seeta High school e Mukono nga kiteeberezebwa nti yeetuga.