Connect with us

News

Owa NIRA Gamumyukidde Mu Kkooti Lwakusaba Nguzi Ya 250,000 Okuzza Endagamuntu Obugya

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Omukozi w’ekitongole kya NIRA ekivunaanyizibwa ku by’endagamuntu asindikiddwa ku alimanda e Luzira nga kigambibwa nti baamukutte asaabye enguzi ya mitwalo 25 okuzza endagamuntu omugya mu wiiki emu.

Jassy Talemwa 28 , omutuuze w’e Balintuma, e Mengo mu ggombolola y’e Lubaga kyokka nga mukozi mu NIRA yeeyakwatiddwa bambega b’ekitongole ekirwanyisa enguzi mu maka g’obwapulezidenti nga kikwatira wamu ne poliisi.

Ono eyasimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi Alex Niyonzima ow’eddaala erisooka ku Buganda road emisango gy’okufuna ssente mu lukujjukujju yagyegaanye kkooti n’emusindika ku alimanda okutuuka nga February 6, omwaka guno.

Kkooti yategeezeddwa nti Talemwa okukwatibwa kyadiridde munnayuganda Micheal Bamwagala okugenda ku ofiisi za NIRA ku Lumumba Avenue mu Kampala nga endagamuntu ye yagwako kyokka omukwate nasaba enguzi ya mitwalo 25 okugimukolera mu wiiki emu.

Wabula Bamwagala kino yakirabye nti kimenya mateeka keekutuukirira aba State House AntiCorruption Unit abateze akanyebwa ne kamukwasa.

Talemwa yabadde asabye kkooti emukkirize okweyimirirwa kyokka omuwaabi wa kkooti Amy Grace nakiwakanya nti yabadde yeetaaga okusooka okwenenya abaleeteddwa okumweyimirira.