Bya Musasi Waffe
Kololo
Poliisi esindiridde abazigu bana ababadde balumbye banka mu Kampala banyage ebisawo bya ssente.
Bino bibadde ku Stanbic bank ku Acacia mall e Kololo mu Kampala ababbi gye babadde balumbye banyage ssente ku mudumu gw’emmundu.
Kyokka bano abagambbibwa okuba abakambwe era abatunda edda omutima basanze poliisi ebetegekedde amasasi ne gaaka era gye bikidde nga bana bafu.
Munnabwe ow’okutaano naye amasasi gamusonye kyokka asigaddeko kikuba mukono era poliisi emututte mu ddwaliro gyakumibwa obutiribiri.
Mu kiwandiko ekifulumiziddwa poliisi etegeezezza nti abatiddwa beebamu kwabo ababadde ku lukalala lwa poliisi okwababbi b’emmundu abataseka.
Egambye nti ebisingawo okuli amanya , olukwe n’obunyazi obulala bwe bazze benyigiramu ejja kubitegeeza eggwanga.
Bino webigyidde ng’ababbi besomye okubbisa emmundu n’okutta mu Kampala n’ebitundu ebirala naddala aba mobile money.